Eyayiridde abafumbo asidi ayogedde eyamutumye

OMUVUBUKA Ivan Ayivo agambibwa nti yapangisiddwa okwokya abafumbo ‘asidi’ ayogedde erinnya ly’omuntu gw’agamba nti ye yamuwadde omulimu gw’okwokya Justine Namanda ne bba Kassim Kakaire.

Bya JOSEPH MAKUMBI NE DEBORAH NANFUKA

OMUVUBUKA Ivan Ayivo agambibwa nti yapangisiddwa okwokya abafumbo ‘asidi’ ayogedde erinnya ly’omuntu gw’agamba nti ye yamuwadde omulimu gw’okwokya Justine Namanda ne bba Kassim Kakaire.

Erinnya ayogeddeko limu lya “Kabootongo” nti ly’amanyiiko era ng’akolera mu ssaluuni y’omu Kisenyi mu Kampala.

Poliisi yagenze mu Kisenyi okukwata omuvubuka eyeeyita Kabootongo agambibwa nti yawa Ivan obukadde bubiri okuyiira Namanda ne Kakaire asidi!

Namanda ne Kakaire abakolera mu Container Village mu Kampala mwe balina amaduuka agasuubuza engatto agayitibwa Namanda Traders baabalondodde bali ku luguudo lwa Northern By-Pass nga baakatuuka e Naalya, owa bodaboda n’abatomera ng’abava mabega era olwayimiridde n’abayiira asidi ng’atandikira ku ludda olwabaddeko Namanda.

Namanda alina n’amaduuka g’engatto amalala mu katale ka St. Balikuddembe (Owino) ne mu Kikuubo.
Poliisi ekutte omukazi ayambeko mu kunoonyereza Poliisi yakutte mukazi wa Kabootongo amanyiddwa nga Joan Katushabe agiyambeko mu kunoonyereza.

Nisha, mukyala wa Kakaire nnamba bbiri ajjanjaba abalwadde
e Mulago.

Baamukwatidde ku Bus Terminal awali ssaluuni mw’abadde akolera ne bba era nga balinawo n’ebbaala.

Joan bamugasse ku Ivan eyasoose okukwatibwa olw’okumusanga n’ebisago bya ‘asidi’ agambibwa nti yamusammukidde ng’ava ku mmotoka UAJ 639K, abafumbo bano mwe baabadde batambulira nga bava e Nyenga ewa maama wa Kakaire nga badda ewaabwe e Namavundu – Kasangati.

Ivan yagambye nti tamanyi nsonga evaako obuzibu wabula n’ajuliza Kabootongo nti ye yamuleetera ddiiru n’amugamba anoonye b’anaakola nabo okugituukiriza. Wabula Kabootongo yadduse ng’ategedde nti Ivan akwatiddwa.

Akulira poliisi ya Kisenyi Bus Terminal, James Kintu yagambye nti baakutte Katushabe ayogere ky’amanyi ku ddiiru eyalimu bba n’okuyambako mu kuzuula Kabootongo eyadduse.

Katushabe yaggaliddwa ku poliisi y’e Kira ku fayiro CRB/1295/2014 okwateekeddwa Ivan.

Omwogezi w’eddwaaliro ly’e Mulago, Enock Kusasira yagambye nti Ivan yabadde atolose ku kitanda ng’adduse n’empingu, wabula abaserikale ne bamugoba ne bamukwata.

Kyokka Kusasira yategeezezza nti embeera y’abafumbo ekyali mbi, wabula abasawo bakola ekisoboka okutaasa obulamu bwabwe. Namanda yayidde mu maaso ne mu kifuba ate Kakaire n’aggya omutwe ne mu maaso.

Wabula omwana owa wiiki emu gwe baabadde naye teyafunye bisago. Hajji Nasser Sebende mukwano gw’abafumbo bano ng’akolera mu Container Village yagambye nti balina okutya nti asidi,
omu yamugenze mu kamwa n’amumira era kati afulumya ebintu ebiddugavu!

Biva wano;

Omuzigu azingizza abafumbo mu mmotoka n'abayiira asidi

Poliisi enoonyereza ku bigambibwa nti Namanda alina omusajja gye yanoba ng’ono yali akyamwagala; kyokka era banoonyereza ne ku bakazi abasukka mu babiri Kakaire b’alinamu abaana. Kuno bagasseeko empalana ezeekuusa ku bizinensi.

Nisha Kakaire mukyala wa Kakaire owookubiri yagambye nti aba famire bonna bali mu kutya okw’amaanyi.


Eyayiridde abafumbo asidi ayogedde eyamutumye