Yiino eddiini empya ezze mu uganda,Mwoyo bwakulinnya osibira mu nsiko!

Atayambadde byeru tayanirizibwa mu kkanisa eno.

 Omu kubagoberezi nhga ali mu nsiiko mwoyo amulinnye

YIINO eddiini Mwoyo Mutuukirivu gy’akka ku bagoberezi n’abasindika mu nsiko. Beeyita Balegio nga basabira mu Legio Maria Church of Africa Mission era mu ssinzizo lino atayambadde byeru tayanirizibwayo.

Abakulembera Rev. Ronald Joanison e Mayuge ku kyalo Matovu mu ggombolola y'e Bukaboli annyonnyola: Ensinza eyaffe yeefaananyirizaako ey’Abakatoliki kuba tukkiririza mu Bikira Maria ne Yezu, oyinza okugamba nti twekutula ku Klezia kuba bye twawukanamu bitono ddala.

Abalegio yatandika mu 1963 ng’esinziira ku muliraano e Kenya ate wano mu Uganda yatuuka mu 1972. Baatandikira mu Mayuge n’okutuusa kati tukyaweereza. Yadde yasookera eno mu Mayuge naye ekitebe ekikulu kiri Luzira mu Kampala nga mu ggwanga lyonna tulina amatabi 10. Atutwala ye Rafeal Titus Adika atuula mu Kenya.

Wano tulina abagoberezi 60 wabula nga mu disitulikiti yonna eya Mayuge tulina kkanisa ezisoba mu ttaano ezisangibwa ku byalo wano e Matovu, Buyanga, Musubi, Miyanzi n’ebirala. AMATEEKA KWE BATAMBULIRA Okusookera ddala, mu Balegion tulina bye tutakola bingi omuli obutanywa mwenge, sigala, tetukkiririza mu basawo ba kinnansi omuli eby’amasabo kuba ebyo tubitwala nga bya sitaani.

Abagoberezi nga basimbye ennyiriri okugenda okwetooloola omusaalaba.

 Tugoberera Bikira Maria ne Yezu era tubassaamu ekitiibwa. Tusinza buli Ssande n’ennaku endala bbiri, Olwokusatu n’Olwomukaaga nga mu zino tutandika okusinza ku ssaawa 3:00 ez’ekiro ne tukeesa obudde.

Omwami ajja okusinza bw’aba alina abakyala abasukka mu omu tetumugaana kuba tukimanyi nti gyekiri naye nga tuwagira kya musajja kubeera n’omukyala omu nga bwe kyawandiikibwa. Mu ssinzizo tetuyingira na ngatto kuba ate mu kuyingira tuyita mu wankaaki ne tusinza Bikira Maria ne Yezu nga tuli batukuvu.

Mu ssinzizo temuyingiramu ayambadde lugoye lwa langi ndala okuggyako olweru n’emisaalaba mu bulago. Kino kikolebwa kuba Mwoyo Mutukuvu takolagana na langi ndala era oli bw’ajja nga tayambadde byeru asigala bweru.

ENSINZA Olutuuka mu ssinzizo batandika okutendereza n’okuyimba mu Lujaluwo n’olusamya. Joanison agamba okusinza olutandika ng’abamu bakwatibwako Mwoyo era olubayingira batandika okwekuba ebigwo ng’abalina emizimu egibakutte.

Mwoyo ono abakkako abaleetera okubuukabuuka, okukaaba nga bwe bayita erinnya lya Samson omutuukirivuAbamu Babuuka mu bbanga nga bwe beekuba ebigwo abalala kwekulula wansi mu ttaka, abandi kukoona mitwe wansi nga tebawulira bulumi.

Mwoyo abamu abasindika mu nsiko olwo ne batandika okubuukabuukira eyo." Gabriel Ojabo, omu ku bakabona ng’ono abuulira enjiri mu disitulikiti ezisoba mu ttaano omuli Namayingo, Bugiri, Busia, Tororo n’endala agamba: Ku wolutaali bateekawoemisubbaawa nga gyaka ng’ebimuli okulaga nti bye basinza bya kitangaala.

Rev. Joanison ng'awa abagoberezi amazzi. Ku ddyo ye Ssaabadinkoni waabwe Ojabo.

 

Akulembedde okusinza bw’amala alina amazzi g’anywesa abagoberezi ng’abaana abato babawa emirundi ebiri ate abakulu emirundi esatu olummaliriza n’abayiwa mu mutwe nga be babatiza era kino oluggwa omugoberezi afukamira n’asaba n’okwebaza omukisa.

Okusinza oluggwa tufuluma essinzizo nga tusimbye ennyiriri bbiri, abaami bokka n’abakyala bokka ne batambula okuva erudda n’erudda nga badda awali bendera n'omusaalaba olwo ne bayisihhanya, bwe baggwaayo ng’okusinza kuwedde.” Omubaka wa Bunya East, Waira Kyewalabye Majegere eyeetabye mu kusaba kw’omwaka yakubiriza Abalegio obutakola bintu bikontana na gavumenti .

Yabasabye okukwatagana n’eddiini endala ne gavumenti okusobola okulwanyisa ebikolwa ebikyamu ng’okusaddaaka abaana, obwenzi, ettemu n’ebikolwa ebirala ebyekko