Gavumenti ereese abajulizi 15 ku musango gwa Byandala

GAVUMENTI ereese abajulizi 15 okulumiriza minisita Abraham Byandala nga bwe yeekomya ssente obuwumbi 24 ezaali ez'okukola oluguudo lwa Mukono Katosi.

 Minisita Byandala bwe yabadde ava mu kkooti okusomerwa emisango.

GAVUMENTI ereese abajulizi 15 okulumiriza minisita Abraham Byandala nga bwe yeekomya ssente obuwumbi 24 ezaali ez'okukola oluguudo lwa Mukono Katosi.

Omuwaabi wa Gavumenti mu ofi isi ya Kalisoliiso, Sarah Birungi ategeezezza omulamuzi, Lawrence Gidudu owa kkooti Enkulu ewozesa emisango gy’obulyake n’obukenuzi nti bategese abajulizi 15 okulumiriza Byandala.

Byandala yabadde alabiseeko mu kkooti okutandika okuwulira emisango egimuvunaanibwa era nga gyonna yagyegaanyi.

Byandala yazzeemu okukikkaatiriza eri omulamuzi Gidudu nti teyeenyigirangako mu mivuyo gya kubulankanya ssente z’okukola oluguudo era ebimuvunaanibwa bikonjere.

Emisango Byandala gye yeegaanyi gyekuusa ku kukozesa obubi ofi isi ye, okufi iriza Gavumenti ssente ezisoba mu buwumbi 24, okwenyigira mu bitamukwatako n’okujeemera ebiragiro bya Kalisoliiso wa Gavt.

Byandala yeegaanyi ne banne abalala okuli Ying. Berunado Ssebbugga Kimeze, Joe Ssemugooma, Apolo Senkeeto ng’oluusi yeeyita Kalyesubula Mark, Isaac Mugote n’eyali munnamateeka w’ekitongole ky’enguudo (UNRA) Marvin Baryaruha.

Minisita Byandala ne banne emisango egibavunaanibwa kigambibwa nti baagizza wakati wa 2013 - 2014.

Obujulizi bulaga nti minisita Byandala ng’akozesa obuyinza bwe yakkiriza ekitongole ky’enguudo okukola kontulakiti ne kkampuni ey’empewo eya Etauw’ ekole oluguudo lwa Mukono Kyetume Katosi ne Kisoga - Nyenga ekyafi iriza Gavumenti ssente kuba teyasooka kunoonyereza ku kkampuni eno.

Oluvannyuma lwa Kalisoliiso wa Gavumenti okulaba nga kkampuni ya Eutaw omulimu ogugiweereddwa tejja kugusobola, yawandiika ebbaluwa ebayimiriza kyokka Byandala n’anyooma ebiragiro bye n’alagira aba Eutaw okugenda mu maaso n’okukola.

Omulamuzi Lawrence agambye nti omusango guno agenda kutandika okuguwulira nga March 1, 2 ne 3, 2016 era nalagira enjuyi zombi okubaawo.