Wuuno Pulezidenti ow'abakazi 2 nga talina mwana kunsi

Wuuno Pulezidenti ow'abakazi 2 nga talina mwana kunsi

 Pulezidenti Bashir ng’akutte emmundu.

PULEZINDENTI wa Sudan, Omar al-Bashir akoze bingi ebirungi n’ebibi kyokka abamumanyi bagamba nti, ebimu abikoze lwa butasoma nnyo nga muno mwe muli n’okukkiriza amagye ge okutuga abamuwakanya.

Mu byonna, Bashir asinga kuwa nsonga emu nti, alwanyisa abo abaagala okukutula mu nsi ye, Sudan ebiwayi.

Wabula baamulemerera era baagikutulamu n’evaamu ne South Sudan n’atuukiriza olugero lw’atakulekera naawe tomulekera, ennyanja ekutta omira.

Bashir ng’amannya ge amatuufu ye Omar Hassan Ahmad al-Bashir, alina likodi 20 z’akoze bukyanga ajja mu buyinza mu 1989 n’akulembera ensi eyali esinga obunene mu Afrika okutuusa 2011 lwe yakutulwako South Sudan mu kalulu k’ekikungo.

Bannansi ba South Sudan abaakulemberwa Salva Kiir baasalawo beefuge.

LIKODI Z’ATADDEWO

Bashir ye Pulezidenti eyasooka okussibwako ekibaluwa ki bakuntumye ekya kkooti y’ensi yonna ng’akyali mu ntebe. Kyamussibwako mu 2009 nga baagala awozesebwe olw’ekitta bantu ekizze kibeera mu nsi ye olw’entalo z’azze alwana n’abayeekera naddala ab’e Darfur gy’agambirwa okuwagira bamukwatammundu aba Janjaweed abaalwanyisa abatuuze b’e Darfur abaali baagala okwekutulako mu lutalo luno olwatandika mu 2003. Lwafi iramu abantu bangi, okukwata abakazi n’emisango emirala egimuvunaanibwa.

Y’omu ku Bapulezidenti abasinga obugagga mu nsi yonna, kyokka kigambibwa nti talina mwana.

Omukutu gwa ‘Wikileak cable’ ogw’abakessi mu 2009 gwalaga Bashir nti yalina obuwumbi mwenda obwa doola mu banka z’e Bulaaya naddala e Bungereza. Omuwaabi wa kkooti y’ensi yonna eyamussaako ekibaluwa, Luis Moreno- Ocampo yategeeza abakungu ba Amerika (ensi esinga obutakolagana ne Bashir) nti, omusajja alina buwumbi na buwumbi z’aggya mu mafuta g’eggwanga n’azissa mu bbanka ezo.

Kyokka Bashir bwe yali ayogera n’abamawulire aba Guardian ab’e Bungereza yeegaana ssente ezo n’agamba nti Ocampo ne banne tebamwagalangako baagala kumukyayisa, kye baava bamussaako n’ekibaluwa ki bakuntumye.

ABAKYALA BE BATYA OKWASANGUZA EBYAMA 

Pulezidenti Bashir ng’akutte emmundu.

 

Wadde alina abakyala babiri okuli, Fatima Khalid ne Widad Babiker Omer gwe yafunira ku myaka 50, talina mwana ku nsi kyokka nga kino kyalema abantu b’akulembera okumanya kwe kiva.

Kababeere bakyala be teri asobola kwetantala kunnyonyola kizibu kya Bashir. 

Mukyala Omer yali mukazi wa munnamagye ow’amaanyi eyafa e Sudan, Ibrahim Shams al-Din kyokka Bashir n’amuwasa n’agamba nti, yakikoze kibe kya kulabirako eri abaserikale abalala bawase bannamwandu b’abajaasi ababa bafudde babalabirire.

Bwe yali yaakatuula mu ntebe, kyali kibonerezo kya kuttibwa ng’osangiddwa ne ssente za Amerika eza doola. 

Kino yakigyawo oluvannyuma n’akkiriza n’emikutu gy’empuliziganya egy’obwannannyini ng’akizudde nti ebyo by’ebimu ku byali bimuwalanya Abazungu. Okulemesa doola yali tayagala kuguza Bazungu mafuta agali mu Sudan. Eno y’emu ku nsonga lwaki abayeekera ba John Garang aba SPLA baali ba maanyi ng’amaanyi gava mu Bazungu abaayagala amafuta era akalulu akaasalamu Sudan, amafuta agasinga gaagenda mu ba Salva Kiir (Garang) abawagirwa Abazungu.

•Yazaalibwa January 1, 1944 ku kyalo Hosh Bannaga mu Sudan era n’akulembera ekibiina kya National Congress.

•Okusoma kwe kwonna kwali kwa byakijaasi era gwe mulimu gw’asinga okumanya. •Yasomera mu Sudan Military Academy mu 1966.

•Yakolerako mu Sudanese Armed Force ate mu 1960 n’ayingira amagye ga Sudan ng’omujaasi omutendeke.

•Kyokka mu 1966 yatikkirwa diguli mu byekijaasi.

PULEZIDENTI Bashir engeri gye yatendekebwa eby’ekijaasi, teyesisiggiriza mu by’okukekeza ennyago.

Mu 1973 yalwanirako mu ggye lya Misiri mu lutalo lwa October ng’erwanyisa Yisirayiri. Mu 1989-1993 yafuuka minisita wa Sudan ow’ebyokwerinda.

Olwava awo n’awamba obuyinza ku yali Katikkiro Sadiq al- Mahdi nga June 30, 1989 era amazeeko emyaka 27 nga kati akwata ekifo kya 11 ku Bapulezidenti abasinze okulwa mu bukulembeze mu nsi yonna.

 

Y’akabeera n’abamyuka musanvu nga bagenda ne bamulekawo okuli;

i. Zubair Mohamed Salih ii. Ali Osman Taha iii. John Garang eyali akulembera SPLA. Endagaano ya 2005 eyagya Garang ne basajja be mu nsiko bwe yali egamba. iv. Salva Kiir v. Ali Osman Taha vi. Bakri Hassan Saleh vii. Ahmed al-Mirghani •Mu April wa 1990 yawona okuwambibwa abajaasi be era yalagira 30 ku baali mu mupango battibwe.

• Oluvannyuma yeewa ekitiibwa kya Field Marshal. Ky’ekitiibwa ekisinga obunene mu magye g’amawanga naddala aga Bungereza n’amawanga agaakulemberwako Bungereza.

Entalo endala z’alwanye i. First Sudanese Civil War ii. Yom Kippur War iii. Second Sudanese Civil War Mu myaka gy’ekyenda yagoba sipiika wa Palamenti, Hassan al-Turabi, ow’ekibinja ky’Abasunni olw’okuleeta ekiteeso ekikendeeza ku buyinza bwe.

Turabi bwe yadduka mu ggwanga n’agamba nti amagye ge gabasibyeko omusajja era ssente zonna azimalira ku ggye. Eggye lya Sudan likwata kyakusatu mu maanyi mu Afrika ng’ogyeko erya South Afrika n’erya Misiri okusinziira ku mikutu gya yintanenti.

Abamumanyi bamutenda okwewulira ate nga munyoomi wa bbaluwa ky’ova olaba nga kkooti y’ensi yonna yamulemesa okutambula wabula akyagenda mu mawanga g’ebweru.

Yagenda e Saud Arabia, Misiri ne South Afrika gye baali bamuyooledde mu June wa 2015, kkooti bwe yatuula obukubirire esalewo ku ky’okumukwata n’addukayo kibombya mbwa. Yaakalondebwa emirundi esatu kyokka ebiri gyaliwo nga kkooti y’ensi yonna yamukaliga dda.

Okulonda okusooka kwaliwo mu 2010 ne 2015 era nga yakuwangula wadde ebibiina eby’amaanyi ebimuvuganya byagaana okwetaba mu kulonda nga bigamba nti tekujja kubaamu bwenkanya

EKYAMA EKIRI MU MUGGO GW’ATERA OKUKWATA PULEZIDENTI

Omar Bashir alina omuggo gw’akwata naddala ng’ali mu yunifoomu y’amagye, ekkanzu oba kawunda nga buli lw’agukwata, abamumanyi bagamba nti aba mukambwe ng’ayogera emitaafu gimwetimbye mu kyenyi. Kino kye kyavaako abamu okulowooza nti abasawo b’ekinnansi mwe baasibira eddagala erimunywerezza mu buyinza.

Abalala bagamba nti kye kikyalemesezza n’Abazungu abaamussaako ekibaluwa ki bakuntumye okumukwata nga we bandimufunzirizza, abeemululako n’adduka nga bwe yakola bwe yali agenze mu South Afrika mu lukiiko.

Okweganga okulala kuli mu nkoofi ira gye baamukolera eriko ebyoya by’empungu. Eno agyambalirako eddiba ly’empologoma n’amajolobera amalala era atera kubyambala ku mikolo gy’ekinnansi olulala ng’alina okujaguza kw’akola. Kigambibwa nti omuganga amukolako takkirizibwa kukola ku bantu balala era asasulwa omusimbi mungi n’atajulirira na bulimu bulala.