Ababaka beekandazze olwa Kayihura obutalabikako

Ababaka beekandazze olwa Kayihura obutalabikako

 Abamu ku babaka abeekandazze ne bafuluma olwa Kale Kayihura obutalabikako mu kakiiko. Okuva ku kkono; Muwanga Kivumbi (Butambala), Gilbert Olanya (Kilak South), Mubarak Munyagwa (Kawempe South)

ABABAKA ba Palamenti beekandazze ne bafuluma mu lukiiko, nga bawakanya eky’omuduumizi wa Poliisi, Gen. Kale Kayihura, obutalabikako wadde nga yayitibwa. Akakiiko ka Palamenti ak’ebyokwerinda n’ensonga z’omunda, akakubirizibwa Judith Nabakooba (mukazi/Mityana) kaatudde ku Lwokuna okusisinkana abakulira Poliisi.

Muwanga Kivumbi (Butambala) era minisita w’ensonga z’omunda mu gavumenti y’oludda oluvuganya, yalagiddewo obutali bumativu olwa Kayihura obutajja ate nga ye yeetooloolerwako ebisinga. Yategeezezza nti ne mu palamenti y’omwenda, Kayihura yeebulankanyanga, kye yayise obutassa kitiibwa mu Palamenti.

Yawagiddwa Beatrice Atim Anywar (Mukazi/Kitgum), wabula Nabakooba n’abategeeza nga Kayihura bwe yeetonze olw’obutabaawo mu bbaluwa eyasomeddwa AIGP Okoth Ochola. Kayihura yategeezezza nga bwe yabadde agenze e Nairobi mu lukiiko olw’amangu n’aduumira poliisi y’e Kenya.

Kivumbi yategeezezza nga bwe yabadde awulidde Nabakooba ku leediyo ekiro ng’ategeeza nga Kayihura bw’atagenda kujja mu kakiiko kuba yabadde agenda mu kkooti, wadde bino Nabakooba yabyegaanyi. Olukiiko lwawummuddemu okumala akabanga oluvannyuma Ababaka abaakulembeddwa Muwanga Kivumbi, Mubarak Munyagwa (Kawempe South), Allan Sewanyana (Makindye West), Gilbert Olanya (Kilak South), Col. Ibrahim Abiriga (Arua Municipality/NRM) n’abalala ne bategeeza nga bwe batajja kuddamu kusisinkana Poliisi nga Kayihura taliiwo.

Omubaka Muyanja Mbabaali, Felix Kulaigye ne Theodore Sekikubo baagezezzaako okubawooyawooya nga buteerere.

Abakungu ba poliisi mu maaso g’akakiiko ka Palamenti akakulirwa omubaka Nabakooba (ku ddyo).

 POLIISI BAGIKUNYIZZA Oluvannyuma ng’ababaka abamu bafulumye, olukiiko lwagenze mu maaso.Baabuuzizza abakungu ba poliisi lwaki batulugunya abantu, okukolagana n’ababbi nga ba Kifeesi ssaako obutali bwenkanya mu kuwa abaserikale emirimu n’ekya Kayihura okwemalirira. Omubaka Sarah Tamulanda (Mukazi/Mpigi) Kato Lubwama (Lubaga South) ne Francis Zaake (Mityana Municipality) bakira be bamu ku babuuza.

Ochola yagambye nti omuserikale yenna atulugunya n’okubba, avunaanibwa ku lulwe era banoonyereza abaali mu mmotoka eyalabikidde mu katambi ng’etomera omusajja mu bugenderevu. Ku kyababbi b’essimu, baasabye kkampuni zitereeze eby’okuwandiisa bakasitoma baazo kuba bingi tebijjula n’agamba nti Kayihura ebibye ajja kubyeddiramu lw’alibaawo.

Kyokka AIGP Andrew Felix Kaweesi yagambye nti okukozesa emiggo baakisalawo nga Poliisi. Minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda, Mario Kania Obiga, yasabye Palamenti ewagire eky’okubongera ssente, bakole ku bizibu by’embeera z’aba poliisi.