Eyazaala 3 agumbye ku poliisi

Eyazaala 3 agumbye ku poliisi

 Nabirye n’abana be ku poliisi.

Mirabu Nabirye 25, ne bba Elimia Wacha, 25 beesitudde ne batwala abaana baabwe abasatu be baazaala omwezi oguwedde ku Poliisi y’e Kaliro nga bagamba nti babalemeredde.

Abafumbo bano babeera ku kyalo Kasuleta mu ggombolola y’e Buyinda mu disitulikiti y’e Kaliro. Abaana kuliko omulenzi omu n’abawala babiri.

Kyokka kitaabwe oluvannyuma yabuze ku poliisi n’abalekera Nabirye ne Nusula Nansubuga akwataganya ensonga z’abaana ku Poliisi eno. Nabirye yategeezezza nti asula atudde ng’abaana bamukaabirira olw’enjala.

Yategeezezza nti bba talina mulimu nga n’abaana abasatu abakulu be balina tebakyasoma olw’obutaba na ssente. Asaba abazirakisa okumuyamba.