Msgr. Jjumba alumbye abayivu abeerabira Katonda

Msgr. Jjumba alumbye abayivu abeerabira Katonda

 Msgr. Jjumba (ku kkono) ng’atongoza akatabo akakwata ku bulamu bwa Fr. Kisekka. Ku ddyo ye Fr. Maviiri.

Viika Genero w’essaza ly’e Masaka, Msgr. Serverus Jjumba anenyezza abayizi abamu n’abasomesa abeerabira Katonda amaanyi ne bagazza ku kunoonya amagezi ag’ensi.

Yategeezezza nti mu mbeera yonna, omuntu tasaanye kuva ku Katonda. Bino yabyogeredde mu mmisa gye yasomedde mu Uganda Martyrs’ University, Nkozi wiiki ewedde abayizi n’abasomesa bwe baabadde basabira omwaka gw’ebyenjigiriza omuggya gwe baatandise.

Amyuka cansala wa Yunivasite eno, Polof. Fr. John Chrysestom Maviiri yasabye abayizi okubeera abayonjo n’okwambala obulungi.

Baasabidde n’omwoyo gw’omugenzi Fr. Joseph Kisekka, eyali akulira ebyensimbi mu Yunivasite eno. Oluvannyuma Msgr. Jjumba yatongozza akatabo akakwata ku bulamu bw’omugenzi akaawandiikiddwa Polof. Spire Ssentongo, omusomesa mu Yunivasite eno.