Abataka balumbye Katikkiro Mayiga okutabula ennono

Abataka balumbye Katikkiro Mayiga okutabula ennono

 Katikkiro Mayiga ng’aliko byagamba Omutaka Charles Muyenje Kimoomera (ku kkono) eyamwanjuliddwa Aboobitiko e Bulange- Mmengo.

ABATAKA abakulu b’ebika batudde ku Bulange we basinzidde okuvumirira kye bayise obutagoberera nnono okukolebwa Katikkiro Charles Peter Mayiga. Wabula Katikkiro abaanukudde nti agoberera ebyo Kabaka by’abeera asazeewo oluvannyuma lw’okwebuuza ku bamanyi ennono kyokka n’abawa amagezi nti waliwo enkola ezirambikiddwa, omuntu alina obutali bumativu ku nsonga z’ennono, gy’alina okuddukira.

Abataka baasinze kwesigama ku kya Katikkiro okukkiriza okwanjulirwa Omutaka Kimoomera ow’essiga lya Kimoomera mu kika ky’Obutiko ng’abamwanjula tebalina buvunanyizibwa bwonna mu kika nga kino kyakolebwa September 6, 2016. Omuwandiisi w’olukiiko lw’Abataka, Mbuga Kasirye Kyaddondo yategeezezza nti:

Okutyoboola n’obutassa kitiibwa mu nnono kususse mu Bwakabaka nga kino kyakamala okweyolekera jjuzi wano e Bulange - Mmengo Katikkiro bweyakkiriza abazzukkulu mu kika ky’Obutiko ate okumwanjulira omusiige mu Lubiri.

Eyaleeta omusiige talina buvunanyizibwa bwonna mu kika kino n’olwekyo tusaba ensonga z’abasiige n’abazzukkulu abagenda mu buweereeza zisigale mu mikono gy’Abataka abakulu b’ebika nga bwe kiri mu nnono.

Omwogezi w’Obwakabaka era nga ye Minisita w’ebyamawulire, Noah Kiyimba yategezezza Bukedde nti balina obuvunaanyizibwa okulaba ng’ebiragiro bya Kabaka byonna naddala ku nsonga z’ebika, biteekebwa mu nkola era nga tewali abyekiikamu.

Kiyimba yagambye nti: Abakulu abeerimbika ku bukulembeze bw’ebika ng’ate Kabaka yasalawo dda ensonga ezikwata ku bika byabwe, tebajja kuggumiikirizibwa kubanga kizuuliddwa nti ebika bwe bibeera tebiteredde ne Nnamulondo ebeera eyuuga n’olwekyo tetuyinza kuleka Nnamulondo kuyuuga.

Ku kye bagamba nti abaayanjula, Charles Muyenje nga Kimoomera nti ssi batuufu, Kiyimba yagambye nti Kabaka yasalawo dda ku butuufu bw’omukulu w’ekika ky’Obutiko mu 1992 nga ye Musoke Kibaya era Henry Namutete eyayanjula Muyenje ewa Katikkiro Mayiga ye Katikkiro w’ekika omutuufu.

Minisita Kiyimba yayongedde nakinogganya nti ensonga eno okugenda okubeerawo, yasooka kwekennenyezebwa okuyita mu mitendera emituufu n’obukulembeze bw’ekika kino bwe buli nga Kabaka bwe yasiima.

Yayongeddeko nti Muyenje yasigibwa kitaawe, Israel Wamala ewa Kabaka oluvanyuma lw’okuwulira ng’amaanyi gamukendedde ng’agenda okumuddira m u bigere singa alibeera avudde mu nsi kyokka olw’enkyukakyuka y’ensi, Namutete agamba nti waliwo abazzukkulu abavaayo nebewangamya ku bukulu bwonna bwebasanganga.

Mayiga ku mukolo kwe yayanjulirwa Kimoomera yategeeza ng’ekiseera bwe kiri eky’okuzzaawo ennono n’obuwangwa bwa Buganda ebyayonoonebwa mu kiseera eky’emyaka 27 Obwakabaka nga buggyiddwaawo era n’asaba Obuganda okugondera ekiragiro kya Kabaka.

Ku kya Kimoomera, Abataka baagasseeko engeri Mayiga gye yakwatamu ensonga z’ekika kya Nakinsige nti teyagoberera bulungi kiragiro kya Kabaka okulaba nga kiyisibwa mu nnono nga kiteekebwa mu nkola. Abataka baagala n’ensonga z’ettaka zitunulwemu waleme kubaawo kaleegabikya.