Bazzukulu ba Ssekabaka Chwa basitudde enkundi ku ttaka okutudde Makerere n'ebitebe bya Gavumenti

BAZZUKULU ba Ssekabaka Daudi Chwa II baagala obuse 20 n'obuwumbi 300 okuva eri Gavumenti mu ttaka lya jjajjaabwe Ssekabaka Chwa II eritannabaddizibwa n'okutuusa leero.

BAZZUKULU ba Ssekabaka Daudi Chwa II baagala obuse 20 n'obuwumbi 300 okuva eri Gavumenti mu ttaka lya jjajjaabwe Ssekabaka Chwa II eritannabaddizibwa n'okutuusa leero.

Abazzukulu nga bakulembeddwaamu Omulangira Kalemera Kimera, mutabani w'Omulangira Kagolo Kimera eyali mutabani wa Daudi Chwa II, bagamba nti okusinziira ku ndagaano ya 1900 Ssekabaka Chwa yaweebwa yiika z'ettaka 160,000 nga zino teziri ku ttaka lya Buganda oba mayiro 9000 nga kati kutuddeko abantu abasoba mu bukadde 10.

Ettaka lino liri mu bitundu eby’enjawulo omuli Wakiso, Mpigi, Butambala, Gomba, Mukono, Masaka, Mubende, Mityana, Nakasongola ne Kampala mu bitundu eby’enjawulo nga kuno kwe kuli ne yunivasite y’e Makerere.

Bagamba nti balina obujulizi obukakasa nti ettaka lino lya Ssekabaka Daudi Chwa II.

Yagambye nti mu 1939 Chwa we yakisiza omukono, yali talina muntu yenna gw’awadde lukusa kukyusa byapa bye era n'abaana be yalina ne batafa ku bya kukyusa ttaka kulizza mu mannya gaabwe yadde okulitunda.

Kalemera yannyonnyodde nti Obwakabaka bwe bwawerebwa mu 1966, ebintu byonna omuli n'ettaka lya Chwa byakwasibwa akakiiko k’eggwanga ak’ebyettaka aka Uganda Land Commission era wano we waava obuzibu n'emivuyo gyonna gye baliko kubanga abantu abalina ebigendererwa byabwe baagenda baliguza abalala, ebyapa ebimu ne bikyusibwa awatali lukusa lwonna kuva mu baana ba Chwa.

Mu 2011 omulamuzi wa kkooti Enkulu, Moses Mukiibi yawa abaana ba Chwa okuli Omulangira David Alexander Ssimbwa, Nnaalinya Edith Nabweteme n'abazzukulu okuli Omulangira David Namugala Mawanda, Nnaalinnya Dorothy Nassolo, Nnaalinnya Gladys Nandawula Kyakuse Lumaama, Moses Kimera Luswata ne Ssaava Iga Matovu obuyinza okuddukanya ebintu bya Chwa.

Obumu ku buvunaanyizibwa bwabwe mwalimu okugaba ebintu byonna ebyali ebya Ssekabaka Chwa eri abaana be n'abazzukulu nga muno ne Kabaka Ronald Muwenda Mutebi mw’ali kyokka abaana ba Chwa bonna baafa okugyako Omulangira J.B Muggale nga bonna tebaganyuddwa mu ndagaano ya Bazzukulu ba Ssekabaka Chwa basitudde enkundi ku ttaka okutudde Makerere n’ebitebe bya Gavumenti 1900 eyawa kitaabwe ettaka.

Kuno yagasseeko nti bukyanga Gavumenti ezzaawo Obwakabaka ebyapa bingi biddiziddwa Obwakabaka kyokka lyo ettaka lya Chwa teriweebwanga balivunaanyizbwako.

“Kati tetumanyi oba nga n'ettaka lya jjajjaffe Chwa baaliwa Bwakabaka kubanga ffe ng’abazzukulu tetufunanga kintu kyonna kuva mu gavumenti ya wakati era bakitaffe ne bassenga bonna bafudde baweddewo tebafunye mu ttaka lya kitaabwe.

Ebizimbe bya Gavumenti omuli ne minisitule ez'enjawulo zonna zitudde ku ttaka lya Chwa naye tewali yali esasulidde ttaka lino yadde okulipangisa kyokka abantu abatuufu abalina okuganyulwa mu bya Chwa tebalina bwogerero.

Kalemera eyakulembeddemu banne ng’ayita mu looya we Ssenkeezi Ssali yazzeeyo mu kkooti y'ensonga z'amaka esangibwa ku Crusade House n’agisaba abantu abaaweebwa obuyinza basazibwemu, beerondemu abantu abalala kubanga emyaka etaano kati tewali kintu kya Chwa kye baali banunudde nga n'abamu bafudde.

Amyuka omuwandiisi wa kkooti eno, Justine Atukwasiza yabalagidde bakomewo nga October 11, 2016 lw’anaddamu okuwulira okusaba kwabwe.