Mabirizi eyawawaabira Kabaka atabuse;Awadde kkooti ekiragiro ekikambwe!

Mabirizi eyawawaabira Kabaka atabuse;Awadde kkooti ekiragiro ekikambwe!

 Male Mabiriizi Kiwanuka

MALE Mabirizi Kiwanuka eyawawaabira Kabaka ayongedde okukaluba, asabye kkooti eragire Bannamateeka abakiikirira Kabaka baleete ebbaluwa eriko omukono gwe ng’abawa obuyinza okumukiikirira.
 
Babadde mu kkooti ekulu mu Kampala mu maaso g’Omulamuzi Alex Ajiji, Mabiriizi n’agamba nti Bannamateeka Christopher Bwanika, Isaac Mpanga, Charlotte Nalumansi ne Barnabaus Ndawula Kabaka bamukiikirira mu bukyamu.
 
Bano babadde baleese ebbaluwa ng’eriko omukono gwa minisita wa Kabaka David Mpanga nga Ssabawolereza wa Mmengo kyokka Mabiriizi mu kubaanukula n’ategeeza nti Mpanga taliiwo mu mateeka.
 
Mabiriizi yawawabira Kabaka ng’agamba nti ekitongole kya Buganda Land (Board BLB) kikola kikyamu okusolooza sente ku bantu nga babawandiisa ku ttaka kubanga Kabaka alikuuma nga muyima so si nga nannyini.
 
Mmengo yasaba kkooti eragire Mabiriizi asooke ateekeyo omusingao gwa Bukadde 500 omusango gulyoke gugende mu maaso naye Mabiriizi akiwakanya.

Ebisingawo biri mu Lupapula lwa Bukedde enkya, Ajiji awadde lwa December 8 2016 okuwa ensala oba Mabiriizi alina okussaayo obukadde 500 omusongo gusobole okugenda mu maaso.