UCE: Abalenzi baleebezza abawala

MINISITA w'Ebyenjigiriza n'Ebyemizannyo, Janet Museveni afulumizza ebyava mu bigezo bya S.4 eby'omwaka 2016.

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’Emizannyo, Janet Museveni afulumizza ebyavudde mu bigezo bya S.4 eby'omwaka 2016.

Abalenzi baleebezza abawala ate ebyabayizi okuva mu masomero 30 okwetoloola eggwanga UNEB ebikutte lwa kukoppa.

Janet agambye nti abayizi bagwa masomo ga sayansi kubanga abasomesa babalemesa okugenda mu ‘labalatole’ okwegezaamu ne bakuuma ebifo nga biggale.

Abayizi 316,624 be baatuula ebigezo; 23,489 nga ku bano 4,454 ababadde mu nkola ya bonna basome baayitidde mu ddaala erisooka, 44,307 mu ddaala ery’okubiri, 63,072 ddaala lyakusatu, 142,479 ddaala lyakuna ate 41,632 baagudde enkoona n’enywa.

Baasinze kuyita Lungereza ne bazzaako C.R.E, Islam R.E, History mu Ssaayansi baasinze kuyita Geography ne bazzaako okubala.

Akulira UNEB, Dan N. Odongo ategeezezza nti ebimu ku biviirako abayizi okugwa kwe kubeera nti bangi tebategeera Lungereza mwe balina okwanukulira ebibuuzo, abasomesa bye bayigiriza abayizi babikwata bukusu.

Ebikozesebwa mu Ssayansi abayizi babibawa bagenda kukola bigezo tebeegezaamu, abakutte obukusu bwe basanga nga bakyusizza engeri gye babuuza ekibuuzo kibalema okwanukula.

Omukolo gw’okufulumya ebigezo gubadde ku ofiisi ya Katikkiro wa Uganda mu Kampala.