
Muwanga Kivumbi (Butambala) asabye Ochola atangaaze lwaki balese abasirikale ba poliisi okubonaabona nga tebalina mazzi, olw’okuba baalemererwa okusasula ekitongole ky'amazzi ne kibasalako.
Mubarak Munyagwa (Kawempe South) yategeezezza nga bwe yawulira omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Andrew Felix Kaweesi ng’akudaalira abapoliisi nti ka balabe kuba amazzi bagakozesa bubi.
Ochola yagambye nti enkambi ezaasalwako za mu Kampala mwokka, nga mu kiseera kino bakekkereza amatono ge balina nga bwe bakola ku kizibu kino.
Ku kya Kaweesi yategeezezza nga bw'atalina kyakimanyiiko kuba teyamuwulira. Kyokka yategeezezza nti bw’aba bwe yayogera ekyo tekyali kya bwenkanya.
Abakungu ba poliisi baleese ennongoosereza mu tteeka erifuga obutujju mwe baagalira Minisita w'ensonga z’omunda mu ggwanga aweebwe obuyinza okukwata omuntu gw'aba ateeberezebwa okuba omutujju.
Kyokka kino kiwakanyiziddwa nnyo Muwanga Kivumbi (Butambala) ne Odonga Otto (Aruu County).