Kayihura afuumudde abayambi be 6 n'abasikiza abapya

AKULIRA Poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura agobye abayambi be mukaaga (6) n'abasikiza abapya.

 Omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura

AKULIRA Poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura agobye abayambi be mukaaga (6) n'abasikiza abapya.

Mu bagobeddwa kuliko;  Acting Commissioner of Police (ACP) Jonathan Baroza, omu ku babadde baludde okukola mu obuweereza mu ofiisi ye.

ACP Baroza amusikizza Commissioner of Police (CP) Abraham Sagal, okuva mu kiwayi kya Poliisi y'ensi yonna mu Uganda.

Sagal y'abadde akulira ebyenkulaakulana mu Poliisi y'ensi yonna mu mawanga ag'Obuvanjuba bwa Afrika okuli; Uganda, Kenya, Tanzania, Rwanda ne Burundi.

Mu nkyukakyuka zino, ezissiddwaako omukono gwa AIGP Moses Balimwoyo, Baroza asindikiddwa mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bakozi mu Poliisi nga bw'alinda okusoma 'kkoosi' emuweereddwa okwongera okumubangula.

Abayambi be abalala abakyusiddwa kuliko; SP  Isaiah Igumira, ASP Immaculate Musiimenta, ASP Ambrose Rwanyonga and Emmanuel Ochamuringa.