
Omubaka wa Lubaga South Kato Lubwama afuumuddwa mu kizimbe kw'abadde yateeka Royal Theatre lwa bbanja lya bukadde 200.
Haji Twaha Gwaivu , nnanyini Tagy Hotel ku Martin Road nga ye mugagga w'ekizimbe Lubwama kw'abadde apangisa ategeezezza nti gibadde giweze emyaka 5 nga tamukombya wadde omunwe gw'e nnusu!
Agaseeko nti ebbanga lyonna omusango gubadde mu kkooti era omuwandiisi wa kkooti Enkulu, Muse Musimbi nga March 22 yawadde ekiragiro Kato Lubwama okwamuka ekizimbe era bawannyondo ba kkampuniya ya Obbo Johnson enkya ya leero ku Lwokubiri nga bakuumibwa poliisi ya Kamplamukadde bakedde kumukasukira bintu bweru.
Kato Lubwama talabiseeko nga ebintu bye bikasukibwa ebweru yadde okuweereza looya we.