Cameroon Gitawo aweereddwa ekitanda nga biwalattaka: Ali bubi

Cameroon Gitawo (Chris Mbibo)omu ku Bannayuganda abakolera e South Africa abamanyiddwa okuyingirawo mu ggwanga ne bavuganya mu kumansa ssente n’okulya obulamu puleesa emukubye ne bamuddusa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi.

  Gitawo ng'afuna obujjanjabi. EBIF: MARTIN NDIJJO

Gitawo awereddwa ekitanda ng’ali mu mbeera mbi.

Munywanyi we Meddie Ssentongo gw’abeera naye e South Africa agamba puleesa yamukubidde mu kubbo bwe baabadde bava mu kibuga Durban nga bakomawo e Johannesburg gye basula.

“Twabadde tuva ku kivvulu kya Durban July ekyabaddewo ku wiikendi nga kino kibeearwo buli mwaka. Olw’okuba twabadde n'enteekateeka okubaako abantu be tusisinkana mu kkubo ku nsonga za bizinensi, twasazeewo okuvuga mmotoka tuyite wansi.

Eggulo nga tukomawo, twabadde twakavugako mayiro nga 40, Gitawo yasoose kwogera nti teyeewulira bulungi n’ekyaddiridde kulaba muntu ng’ataawa. Kino kyampaliriza okumuddusa mu ddwaaliro lya Hillcrest Private Hospital eryabadde okumpi awo nga nnyambibwako bannange abalala bwe twabadde mu mmotoka era eno gye yasuze ng'afuna obujjanjabi.”

 

Gitawo mu musabire assuuke kubanga embeera ennaku zino etusobwedde olw’engeri abantu gye bafamu," Meddie Ssentongo bwe yategeezezza.

Amawuulire ga Gitawo okulwala gaatabudde abawagizi ne mikwano gye ne batandika okwebuuza ekituuse ku basereebu baabwe anti ono puleesa w'emukubidde nga munne bwe babadde bavuganya Ivan Ssemwanga (Ali Ssenyomo)  eyali akulira ekibiina kya Rich Gang kw'ajje aziikibwe ku nkomero y’omwezi gwa May mu mbeera kyenkana y’emu ate nga ne munnaabwe omulala SK Mbuga akyanyiga biwundu oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje akaali kamusse.

Gitawo asinga kujjukirwa mu 2015 bwe yayongera ebbugumu mu nsiike y’okulya obulamu ng'akulira ekibiina kya The Money Team Africa (TMT) bwe bavuganya ennyo n’abekibiina kya Rich Gang.