Bobi Wine bamulayiza leero

OLWALEERO Bobi Wine (Robert Kyagulanyi Ssentamu) lwalayizibwa ku bubaka bwa Palamenti obwa Kyaddondo East.

 Omubaka Bobi Wine ne mukyala we nga bali e Busaabala.

Bobi Wine okwetegekera omukolo yakutandise na kugabula bakakuyege be abaamunoonyeza akalulu nga yabasisinkanye ku bbiici ye eya One Love e Busaabala ku Mmande, eno gye yasinzidde n’alangirira enteekateeka z’omukolo gw’olwaleero nga bwe zigenda okutambula.

Yagambye nti olwaleero asimbula mu kitundu kyakiikirira ku ssaawa 2:00 ez’oku makya, ng’awerekerwako abawagizi 20,000 batambuze bigere okutuuka ku Musanvu (we bookera embuzi), olwo abantu abasinga obungi bakome awo.

Abantu 5,000 bajja kusigala bamuwerekera okutuukira ddala mu kibuga, nga bano abasuubira kumulindira ku National Theatre ye ayingire mu Palamenti alayizibwe ku ssswa nga 8:30 ez’olweggulo olwo amangu ddala afulume yeegatte ku bawagizi be abanaaba bamulindidde ku National Theatre.

Bajja kusimbula boolekere e Kasangati ku kisaawe w’ategese omukolo gw’okwebaza abalonzi, oguliko okulya n’okunywa era ayise aboogezi ab’enjawulo okumwebalizaako abalonzi .

Ku mukolo guno wajja okulambululira byategese okukolera abantu ba Kyaddondo East oluvannyuma lw’okumulonda.

Yagambye nti okumanya yeetegekedde omukolo guno, abantu be tebamumanyidde mu masuuti wabula yaguze essuuti ey’ebbeeyi egya mu mukolo kw’agenda okukwatira ‘Brief case’ okufaananira ddala ng’omubaka omujjuvu.

Bobi Wine yagambye nti ayise abayimbi bangi ne bannakatemba okumusanyusizaako abagenyi be okukeesa budde abantu nga banywa, balya n’okusala endongo etagenda kusirika.

Yasuubizza nti abantu abanaaba tebasobodde kutuuka mu kifo kino, akoze entegeka ezibasanga mu bitundu byabwe nayo ategekereyo obubaga okubeebaza.