Minisita apererezza ababaka okuyisa akawaayiro k'etteeka ly'ettaka

MINISITA w’eggwanga ow’ebyamasanyalaze Simon Djuang asabye ababaka ba palamenti obutasimbira kkuuli kawaayiro k’etteeka akawa gavumenti ekyanya okutwala ettaka ly’abantu okukolerako enkulaakulana bannyini lyo ne bwe baba bakyawalira ng’agamba nti obutakayisa kigenda kukalubya enkulaakulana.

 Minisita w’eggwanga ow’ebyamasanyalaze Simon Djuang

Wabula Bannayuganda bangi okuli Mmengo ne bannaddiini bakyawanda muliro ku kawaayiro, bakawakanya.

Pulezidenti Museveni yasisinkanye ababaka ba NRM ne bakawakanya era ne wassibwawo akakiiko ka bannamateeka okwekenneenya ensonga kawe amagezi.

Akawaayiro kawa gavumenti obuyinza okutwala ettaka ly’omuntu ku mpaka okukolerako enkulaakulana ssente z’emuwa ne bw’aba tazisiimye.

Wabula Djuang eyabadde ayogera eri ababaka ku kakiiko ka Palamenti ak’obugagga obutonde, abaabadde bakyadde mu kifo awazimbibwa ebbibiro ly’amasanyalaze e Karuma yagambye nti Palamenti bw’etabaako ky’ekola kuyisa kawaayiro kano okukulaakulanya ensi kugenda kuba kuzibu.

Yagambye nti abantu bangi batya okwogera ku kawaayiro kano kyokka be beemulugunya nti Uganda esasanya ensimbi nnyingi okuzimba ebintu ng’amabibiro bw’ogerageranya n’amawanga g’omulirwano okuli Rwanda, Tanzania ne Kenya.