Ebirungo ebiri mu musomo gwa Ssenga

Leero (Lwamukaaga) nga October 21, 2017 gwe musomo gwa Ssenga wa Bukedde ogutekeddwa Bukedde famire etwalibwa Vision Group era nga kimanyiddwa nti Ssenga azze afulumira mu lupapula lwa Bukedde buli Lwakubiri okumala emyaka 23, ky’ekifundikwa kya bonna abakola ogwa ssenga mu ggwanga era bwe bumanyirivu obuli mu musomo gwa leero.

 Ssenga Hamidah Namatovu ng’alaga ekigaji. Obadde omanyi nti kiyamba ku bannabukalu? Okuyiga ebirala tosubwa omusomo guno ku Freedom City.

KIGGWA leero osalewo okulemererwa amakaago nga weesubya omusomo gwa Ssenga oba okugabbulula ng’ogenda ku Freedom City weetabe mu musomo ogw’ebyafaayo mu by’omukwano n’amaka.

Pulogulaamu y’olunaku;

* Omukolo gwakutandika ku ssaawa 6:00 era Fagil Monday omukugu mu byenjigiriza n’okugunjula abaana y’ajja okusookawo.

Ono ajja kusomesa ku nkuza y’abaana entuufu era alage n’ensobi ennaku zino abazadde ze bakola mu butanwa ezittattana abaana mu bukulu. Ajja kulambika obuvunaanyizibwa bw’omusajja n’omukazi mu maka, oluvannyuma lw’okukizuula nti abazadde bangi tebamanyi bibasuubirwamu mu maka.

* Edith Mukisa; Ono kakensa mu by’omukwano era omukugu mu mukwano omusome n’ogwebikolwa. Agenda kusooka asomese ku nsonga enkulu ennyo mu mukwano ey’okubeera omuyonjo obudde bwonna eri omusajja n’omukazi.

*Oyo agenda kugobererwa ssenga Hamidah Namatovu ataliiko kabuuza mu kumanya omukwano mu ggwanga.

Agenda kusomesa ku laavu ey’emmizi. Obadde okimanyi nti laavu eyo y’ekuuma ebbugumu ly’omukwano! Okwo Hamidah agenda kukugattirako engeri emmere gy’ekuyamba okuwagala embavu omukwano okugenda mu maaso.

Emmere eno gy’obuusa maaso bulijjo, Hamidah agenda kujja nayo agikulage n’okugikwatako ogikwateko nga ky’osoma ky’olabako.

Waliwo omusawo omukugu agenda okusomesa ku ndwadde z’ekikaba bwe ziremesa omukwano okugenda mu maaso, engeri y’okuzeewala wamu n’obujjanjabi obutuufu.

Omukugu omulala, Joyce Naluggya Tomusange agenda kwogera ku bukodyo obuyamba okutuuka ku lusozi oba entikko mu bakyala n’abaami.

Noolwekyo abaami abanguwa ennyo okutuuka ku lusozi olwo n’abakyala abatatuukirayo ddala okusingira ddala kano kammwe. Abeetabye mu musomo baakuweebwa omukisa buli omu okubuuza akamusiiwa, era abakugu bajja kukaddamu awo wennyini.

Abayimbi okuli Carol Nantongo, Maureen Nantume n’abalala bajja kubaawo okubabeesabeesa ng’eno omusomo bwe gukwajja.

Byonna ebyo ku 10,000/- zokka. Buli omu agenda kwanirizibwa ate nga n’ebyokulya n’okunywa mu kizimbe mwebiri.