
Poliisi okuyimiriza olukung’aana luno kyaddiridde abakulembeze b’ekibiina kya FDC nga bakulembeddwaamu Mugisha Muntu okutuuza olukiiko lw’abakulembeze ba disitulikiti y’e Mpigi, Butambala ne Gomba mu woteeri ya Homeland e Mpigi we baabadde bagenda okusimbula basisinkane abantu baabwe mu kabuga k’e Mpigi okwogerako nabo ku nsonga z’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.
Mu lukiiko luno Mugisha Muntu akunze aba FDC okwesimbawo ku bukulembeze bw’ebyalo n’emiruka bazimbe ekibiina okuva ku mirandira era n’abasaba okumuwagira awangule obwapulezidenti bw’ekibiina asobole okukitwala mu maaso ng’azimba obukulembeze obw’amazima n’okuzimba ekibiina ekiwangaazi.
Omwogezi wa FDC era omubaka wa Kira Municipality mu Palamenti, Ibrahim Ssemujju Nganda yasabye BannaFDC e Mpigi okwewala okuzimbira ekibiina ku muntu omu kubanga kyakusigalawo era n’abakunga okuwa Muntu obuwagizi bwabwe olwebusobozi bw’abalaze emyaka etaano gy’abakulembedde.