
BYA JOSEPH ZZIWA
Vipers SC4-0 Mbarara City
TTIIMU ya Vipers ento eyongedde okukakasa nga bw'eyagla ekikopo kya liigi y’abali wansi w’emyaka 18 eya Fufa junior League bw’etandise okukuba ezimu ku tiimu zi kirimaanyi.
Eno mu mipiira esatu egisembyeyo eguddeko amaliri ga 1-1 ne Soana, n'ekuba Bright Stars 6-1 so nga eggulo yakyazizza Mbarara City n'egiwuttula 4-0 ezaateebeddwa Sulayiman Mpanga ne Moses Bakkabulindi.
Obuwanguzi bwawadde omutendesi Paul Ssali amaanyi n'awaga nti abatannazannya Vipers beesibe bbiri!.
Vipers yasenvudde n'edda ky’okubiri n’obubonero 18 wansi wa Masavu ekulembedde ekimeeza n'obubonero 20 nga Villa y’esembye n’obubonero 4 n’eddiriwa Express 6.