Abantu 3 ku 182 abaakwatibwa mu Kisenyi bassiddwa ku fayiro y'okutta Magara

AB’EKITONGOLE kya CMI ne ISO nga bakolagana ne poliisi basunsudde 182 abaakwatirwa mu muzikiti gw’omu Kisenyi okutandika entegeka z’okubaggulako emisango.

Susan Magara

Ku bano kuliko abantu basatu be baazudde nti beetaba butereevu mu kuwamba n’okutta omuwala Susan Magara era bo bagenda kussibwa, ku fayiro ya Magara bavunaanibwe olw’ettemu lino n’abantu abalala abaalyetabamu.

Poliisi yagaanyi okwatula amannya g’abantu bano kyokka n’egamba nti bagiyambye nnyo okumanya ebintu bingi n’okufuna obujulizi obuwerako mu misango gw’okutta Magara era nga bye baayogedde biyambe okukwata abantu abalala bangi nga n’abeekwese babanoonya bakwatibwe.

Mu kusunsula kuno era abeebyokwerinda baalondobyemu abantu 24 be baafunyeeko obukakafu nti batujju.

Kyazuuliddwa nti abantu bano babadde n’akakwate n’obubiina obw’enjawulo obw’abatujju era nga babadde beenyigira mu kuyingiza abaana abato mu bikolwa by’ekitujju nga bayita mu kubatendeka eddiini.

Ensonda mu CMI zaategeezezza nti abantu bano 24 babadde balina obubondo obw’enjawulo mu bituindu nga Iganga, Bugiri ne Namutumba nga bwe beeyambisa okukuhhaanya abaana okuviira ddala ku myaka 5 okutuuka ku 18 okubatendeka obutujju.

Abaana 108 be baasunsuddwa era kyasaliddwaawo nti abali wakati w’omwaka ogumu n’emyaka etaano baweebwe ba nnyaabwe olwo abawezezza emyaka 18, basooke beekenneenyezebwe okumanya engeri gye batuuka mu kifo ekyo ne kye babadde bakolamu.

Waliwo n’abakazi 50 ab’ebyokwerinda be bali mu kwekenneenya okulaba engeri gye batuuka mu kifo kino ne kye babadde bakolamu.

Abantu bano olwamaze okusunsulwamu ne batwalibwa mu bifo eby’enjawulo ebitannamanyika gye banaggyibwa okutwalibwa mu kkooti.