Omubaka ayagala sipiika aveeyo ku nneeyisa ya Amongi

Amongi Akena okwekomya ettaka eryali ery’Abayindi, Amin be yagoba kimutadde mu kattu.

 Minisita Amongi

Omubaka Odongo Otto (Aruu) agenze mu Palamenti n’asaba sipiika eveemu eddoboozi ku nneeyisa ya minisita oba si ekyo banoonye emikono bamuggyemu obwesige.

Otto yasinzidde mu lutuula lwa Palamenti ku Lwokusatu n’alaga empapula z’agamba nti, bwe bujulizi bw’alina ku minisita Amongi nti yakozesezza bubi ofiisi ye n’okwekomya ebyobugagga.

Ebintu bye yeekomya kuliko; ettaka lya mirundi etaano mu Kampala n’ebyapa ebirala 88 by’aterese ng’alinda okubyezza kw’ebyo 2,000 ebiri mu mikono gye eby’ebintu Abayindi bye baalekawo nga bikuumibwa akakiiko ka Departed Asians Custodians Board.

Ensonga we zituukidde mu Palamenti, nga minisita Amongi era omubaka wa Oyamu South, amaze ennaku bbiri ez’omuddiring'anwa ng’agenda mu maaso g’Omulamuzi Catherine Bamugemereire, yeewozeeko ku bigambibwa nti yayita mu kkampuni ye eya Amobet Investments Ltd ne yeekomya ettaka eriri ku poloti 29, Acacia Avenue e Kololo.

Amongi yategeezezza Omulamuzi nti kkampuni eno yiye era yagikwasa Henry Mubiru y’atambuza emirimu gyayo.

Kyokka yagambye nti ettaka teyalitwala, ebigambo bwe byamutabukira n’alisesema kyokka Omuyindi Toshak Manubhai Patel yabadde alumirizza nti Amongi yali awadde ekiragiro abantu abali ku ttaka lino basengulwe nga yeebuuza engeri gye baafunamu ekyapa kye babadde balina okuva 1968.

Omulamuzi yamulagidde aleete ebiwandiiko byonna ebikwata ku kkampuni eno era aleete ne Henry Mubiru gw’agamba nti y’atambuza emirimu gya kkampubi ye, eya Amobet Investments Ltd.

Otto yategeezezza nti yabadde alindiridde sipiika awe ensala ye ku nsonga eno alyoke ayanje ekiteeso ekiggyamu Amongi obwesige, ababaka batandike okunoonya emikono.