Global Trust Bank lwe yaggalwa lwe baagitunda

SSENTEBE w’akakiiko akavunaanyizibwa okulondoola emirimu gy’ebitongole bya Gavumenti aka COSASE, Abdu Katuntu yawaliriziddwa okuyimiriza olukiiko nga terunnaggwa n’alagira abakulira Bbanka Enkulu bagende banoonye ebiwandiiko kwe baatundira Global Trust Bank.

 Bagyenda wakati ng'aliko by'annyonnyola akakiiko

Ababaka beewuunyizza lipooti eyakolebwa omubalirizi w'ebitabo bya Gavument mu 2006 okutegeeza nti nga July 25, 2014 kwe baggalira Global Trust Bank era kwe baagiguliza bbanka ya DFCU.

Aba Bbanka Enkulu baabasabye okuleeta ebiwandiiko ebiraga engeri gye baatundamu bbanka n'engeri gye baatuuka okusalawo nti DFCU ye yali esinze endala bwe baavuganya mu kugula nga tebabirina.

Justine Bagyenda eyali akulira okulondoola emirimu gya Bbanka yategeezezza nti yabadde takyajjukira oba nga waliwo empapula eziraga ebyateesebwanga.

Yasabye aweebweyo ekiseera asooke yeebuuze ku be yakolanga nabo.

Yagasseeko nti tamanyi lwaki ofiisi y'omubalirizi wa Gavumenti tebaamutuukirako bwe baali babuuliriza ku by'okuggala Bbanka kuba mu kiseera ekyo yali akyali mukozi wa Bbanka Enkulu.

Ebigambo bye Katuntu yabijunguludde bwe yaleese ebbaluwa eraga olunaku abakozi ba ofiisi y'omubalirizi w'ebitabo bya Gavumenti we baasisinkanira aba Bbanka Enkulu ng'olukiiko Bagyenda yennyini ye yaluggulawo era n'alukubiriza.

Katuntu yawaliriziddwa okuyimiriza olukiiko ng'obudde bulijjo kwe bannyukira tebunnatuuka n'alagira abakulira Bbanka Enkulu okunoonya ebiwandiiko byonna bye baabadde babasabye.

Olukiiko nga lutandika, Moses Kasibante (Lubaga North) yasoose kusaba Katuntu batangaazibwe oba nga Bagyenda yabadde amaze okuwaayo Paasipooti eri Palamenti nga bwe yabadde alagiddwa ekintu ekyakoleddwa.

Akakiiko era kaasabye aba Bbanka okuleeta omugatte gw'omuwendo gwa ssente zonna ze baakassa mu bbanka ezaggalwa.