Ajjanjaba abalwadde ba kkansa e Mulago asiimiddwa

DOKITA asinze okujjanjaba n’okubudaabuda abalwadde ba kkansa e Mulago, asiimiddwa ekibiina kya Rotary Club era n’aweebwa engule n’ekirabo kya 500,000/=.

DOKITA asinze okujjanjaba n’okubudaabuda abalwadde ba kkansa e Mulago, asiimiddwa ekibiina kya Rotary Club era n’aweebwa engule n’ekirabo kya 500,000/=. Dr. Victoria Walusansa  (ku ddyo) eyeebuuzibwako mu ndwadde ez’omutawaana nga kookolo ye yaweereddwa ekirabo kino nga kyamukwasiddwa pulezidenti wa lotale, Patrick Kunobwa ne bammemba abalala abaamuwerekeddeko. Dr. Walusansa yasiimye ekirabo ekyamuweereddwa n’agamba nti Rotary esiimye bonna sso si yekka era n’abeebaza okubazzaamu amaanyi.
 

Ajjanjaba abalwadde ba kkansa e Mulago asiimiddwa