Edduuka ly'amasimu eryabbiddwa libakwasizza

POLIISI okuva ku CPS ng’ekulembeddwamu omuduumizi waayo Norman Musinga yakoze ekikwekweto ne bakwata abantu musanvu okuli n’omuserikale wa RRU, ba kigatto ba poliisi abagiwa amawulire n’abantu abalala ku musango gw’okumenya edduuka ly’amasimu ku Kalungi plaza ne babbamu ebintu ebisoba mu bukadde

POLIISI  okuva ku CPS ng’ekulembeddwamu omuduumizi waayo Norman Musinga  yakoze ekikwekweto ne bakwata abantu musanvu okuli n’omuserikale wa RRU, ba kigatto ba poliisi abagiwa amawulire n’abantu abalala ku musango gw’okumenya edduuka ly’amasimu ku Kalungi plaza ne babbamu ebintu ebisoba mu bukadde 100.

Abakwatiddwa kuliko Ramathan  Dikusoka owa RRU, Swaib agambibwa okubba, Yoram Baguma, Okello Odomelo,  Martin Musoke, Denson,  Peter Ssegawa n’abalala.

Okukwatibwa kiddiridde gye buvuddeko wiiki ng’emu  abantu abataategeerekeka okulumba edduuka lya Isaac Ssengendo ne banne okuli ne Meddie  SSegawa ne balisaala ne banyagulula emasimu 300 agabalirirwamu obukadde nga 45, kompyuta ya bukadde 2, amanda g’amasimu ga bukadde 2, kamera 10 za bukadde 45 n’ebirala.

Bagguddwaako omusango gw’okubba n’okweyita kye batali ku fayiro SD/70/27.10/11.
 

Edduuka ly’amasimu eryabbiddwa libakwasizza