Batemye emmotoka ebaddemu embuzi

ABATUUZE b’e Lugoba baazingizza emmotoka egambibwa nti yabaddemu embuzi enzibe ne bagitemaatema kyokka abaagibaddemu ne beemulula ne badduka.

ABATUUZE b’e Lugoba baazingizza emmotoka egambibwa nti yabaddemu embuzi enzibe ne bagitemaatema kyokka abaagibaddemu ne beemulula ne badduka.

Mmotoka eno ey’ekika kya Corolla baagizingizza mu kiro kyakeesezza Lwamukaaga. Akulira ebyokwerinda mu zooni eriraanyewo, Bogere Pakakya yagambye nti obubbi bw’ebisolo buyitiridde mu kitundu era nga baasoose kuwulira mbuzi zikaabira mu mmotoka mwe zaabadde zipakiddwa.

Bwe baayimirizza abaabaddemu bannyonnyole ebizikwatako, beemuludde bwemuluzi ne badduka. Wano abatuuze we baagwiridde ku mmotoka ne bagitemaatema n’okugyasa endabirwamu n’amataala kyokka n’embuzi ne zibuzibwawo. Poliisi y’e Katooke yazze oluvannyuma n’etwala emmotoka.

Batemye emmotoka ebaddemu embuzi