Bp. Kakooza aweze bannabyabufuzi okusaba obululu mu Klezia.

Omusumba wa Klezia atwala essaza ly''e Lugazi, Christopher Kakooza yaweze munnabyabufuzi yenna okukozesa klezia okunoonya obululu mu ssaza lino.

Bya Henry Nsubuga, 

Omusumba wa Klezia atwala essaza ly'e Lugazi, Christopher Kakooza yaweze munnabyabufuzi yenna okukozesa klezia okunoonya obululu mu ssaza lino.

Kakooza yategeezezza nti Kelzia erina okusigala nga kifo kitukuvu abantu gye bagenda okusaba n'okutendereza omutonzi n'agamba nti ayagala okusaba obululu alina kukuba nkungaana za byabufuzi ewalala ewatali mu Klezia.

Yategeezezza nti kino kyasaliddwawo mu lukiiko lw'Abepisikoopi mu Uganda yonna nga bano bafumlumizza n'akatabo akatongole ak'okulambika wa Klezia weeyimiridde ku nteekateeka y'okulonda okwa 2016.

Okwogera bino, Kakooza yabadde ku Lutikko e Lugazi ku Ssande ng'abakyala Abakatoliki abamanyiddwa nga Catholic Women's Guild bakuza olunaku lwabwe olw'essaza olw'omwaka guno.

Omusumba era yalambuludde obukulu bw'omukyala mu nsi yonna okuli okutembeeta obulamu bw'omuntu okuva lw'atonnya mu nsi okutuuka lw'akula ng'obulamu bwe buli mu ngalo za mukazi.

Bp. Kakooza nga agabula abantu keeki

Yagambye nti ne mu kulonda okw'eby'obufuzi, abakyala abeesimbyewo basaanidde okwesigika n'agamba nti abakyala bamanyi kalonda yenna eyeesigamizibwako okutambula kw'eggwanga okusobola okugenda mu maaso obulungi.

Ate akulira abakyala Abakatoliki mu ssaza, Asumputa Gidudu yalaze ennyiike n'agamba nti baakizudde nti obutabanguko mu maka mu disitulikiti okuli Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma bususse okweyongera nga n'entabwe eva ku ky'abantu kuba nga baavu nnyo.

Fr. John Bosco Lule omuyima w'abakyala mu ssaza yasabye abakyala okusigala nga beeyisa bulungi nga bakuuma ekitiibwa ky'omukyala ne bwe baba nga baavu n'agamba nti obutaba na ssente tebusaanye kubaggya mu kkubo ly'Obwakatonda.

Ate eyabadde omwogezi omukulu, Florence Byasigaho okuva ku lukiiko olutwala ebibiina by'abakyala mu ggwanga lyonna, yategeezezza nti ebiseera by'abakyala eby'omumaaso okubeera ebitangaavu birina okubeerawo ng'abakyala beenyigira mu mirimu gyonna egiyimirizaawo amaka, omuli n'okukola ensimbi nabo babe nga babeera n'ettaka n'amayumba

 

Bp. Kakooza aweze bannabyabufuzi okusaba obululu mu Klezia.