Ssemaka akwatiddwa lwa kusobya ku kiggala atenneetuuka!

Ssemaka akwatiddwa lwa kusobya ku kiggala atenneetuuka!

 Omusajja agambibwa okusobya ku kiggala atanneetuuka ng'atunula binsobedde ku poliisi

POLIISI y’e Kitebi ekutte omusajja kaggwa ensonyi eyakkakkanye ku mwana  kiggala  (kasiru) ow’emyaka 13 n’amukaka akaboozi.

Jimmy Kalyango 34 omutuuze w’e Kabowa mu zooni ya Ssembule B y'akwatiddwa oluvannyuma lw’okutwala omwana  Firidausi Nanteza ow’emyaka 13 ng’ono kiggala n’amukaka omukwano.

Kalyango okukwatibwa waliwo omutuuze Asman Kawooya  eyabadde ali ku atambula amakubo ge  eyawulidde kassiru ng’alaajanira mu kiyumba ekikadde okumpi n’oluguudo lw’eggaali y’omukka mu Ndeeba.

Yayanguye okulingiriza mu kiyumba era kwekusanga Kalyango nga  yeebase ku Nanteza ng’ate ali bukunya kwekukuba enduulu abatuuze ne beesomba, baakutte Kalyango ne bamuyisaamu ensambaggere  n’empi era Kawooya yayanguye okukubira poliisi y’e Kitebi essimu eyazze n’emutaasa ku batuuze n’atwalibwa ku poliisi e Kitebi gyakuumirwa kati.

Nanteza mu lulimi lw’okugezesa yalaze  nga bulijjo Kalyango bw’agezaako  okumusooberera okumukozesa wabula ng’adduka okutuusa bweyamukwasizza n’amukozesa, ono yatwaliddwa ku ddwaaliro lya poliisi erya May fair e Najjanankumbi n'akeberebwa era nekizuulibwa nga yakozeseddwa mu by’omukwano.

Akulira ba mbega ku poliisi e Kitebi Francis Kateega ategeezezza  agamba nti bamaze okukasa nti Kalyango yasobezza ku Nanteza  nti era kati banoonya muntu anaabayambako okutaputa olulimi lwa Nanteza olwa ba kiggala, olwo Kalyango atwalibwe mu kkooti avunaanibwe ogw’okusobya ku mwana atanetuuka oguli ku fayiro SD: 30/16/03/16.