Abajulizi mu gw'okutomera omubaka Namaganda bakonkomalidde ebweru wa kkooti

OMUSANGO oguvunaanibwa omusajja eyatomera Namaganda gwongezeddwaayo, abajulizi ne bakonkomalira ebweru wa kkooti.

 Mutebi (ku kkono) eyali avuga Namaganda, Lukonge ne Muwonge abaaleeteddwa ng’abajulizi.

OMUSANGO oguvunaanibwa omusajja eyatomera Namaganda gwongezeddwaayo, abajulizi ne bakonkomalira ebweru wa kkooti.

Akulira abalamuzi mu kkooti ye Mpigi, Jolly Nkore Swandey ye yayongezzaayo omusango oguvuunanibwa Fred Kizito agambibwa okutomera eyali omubaka wa Bukomansimbi Suzan Namaganda oluvannyuma lw’okugwegaana.

Waasoosewo katemba omulamuzi bwe yatuuse mu kkooti ng’omuwawaabirwa Fred Kizito tannaleetebwa wabula ng’abajulizi weebali.

Kizito agambibwa okutomera mmotoka Namaganda mwe yafiira ng'ali ku Poliisi y'e Mpigi

Yakubye ku mmeeza n’afuluma olwo abaserikale ne bafuluma okuleeta omuwawaabirwa.

Omulamuzi yakomyewo kkooti n’egenda mu maaso.

Yasabye abajulizi Ronald Mutebi eyali avuga Namaganda, Holex Yiga Muwonge naye eyali mu mmotoka ne Richard Lukongo, nnannyini mmotoka mwe baatomerera Namaganda bafulumeko wabweru.

Kizito agambibwa okutomera eyali omubaka Namaganda ng'ali mu kaguli ka kkooti e Mpigi. Ebifaananyi bya Paddy Bukenya

 

Yasomedde Fred Kizito emisango n’agyegaana kwe kugyongerayo okutuusa nga April 19, 2016 ekyaleetedde abajulizi okwemulugunya olwobutaddamu kubayita wabweru gye baabasindise.

Abajulizi bano baategeezezza nti Fred Kizito lwe yasooka okuleetebwa mu kkooti tebaamanyisibwa ne bagamba tebamanyi kigenda mu maaso.