Gaagano Amayumba agaazimbwa n'esswagga!

Gaagano Amayumba agaazimbwa n'esswagga!

 THE KUWAIT COBRA TOWER Kino kimanyiddwa nga Burj Cobra. Biri mu nteekateeka y’okuzimbibwa nga kye kimu ku bisuubirwa okukyusa ekifaanannyi kya Kuwait. Aba CGI firm ne (CDI Gulf International) be baakwata ddiiru y’okukizimba.

ATANNAYITAAYITA yatenda nnyina okufumba. Ng’okyatenda ebizimbe by’omu Kampala nga wooteeri ya ‘Kampala Hilton Hotel’ okuba eby’omulembe olw’endabika, obuwanvu n’enzimba ku muntu atambuddeko mu nsi z’ebweru bino biwero.

Bw’otuuka mu bibuga by’ensi ez’enjawulo naddala ezaakula edda, osanga ebizimbe by’otunuulira ne weewuunya amagezi n’obuyiiya bw’abayinginiya bwe bateekamu nga babizimba.

 

Tebikoma ku kya kuba bya bbeeyi wabula mawuuno gennyini okuviira ddala ku dizayini zaabyo ezifudde ebibuga bino eby’obulambuzi ebisitula abagagga, bassereebu, bannabyabufuzi n’abantu abalala ne basasula obuwanana okubirabako.

Ffe wano twalina Masiro ng’enzimba yaago esamaaliriza n’Abazungu bwe baali tebannagakumako muliro.

 

 

PIANO HOUSE Dizayini yaakyo yakolebwa mu kifaananyi kya ggita. Kisangibwa mu China nga kyazimbibwa mu 2007 mu kibuga Huainan. Pulaani yaakyo yakubibwa aba ‘Heei University of Technology’. Mulimu ebisenge mwe bateeseza, mwe bakolera embaga n’emikolo emirala.

 

ABSOLUTE WORLD Obuzimbe buno obubiri obuwanvu nga buliko enju ezipangisibwa okusulamu bwe bumu ku bizimbe ebitaano ebikola ‘Absolute City Centre Development’ mu Mississauga, Ontario mu Canada. Bwa kkampuni ya Fernbrook Homes and Citizen Development Group Bwazimbibwa wakati wa 1998 ne 2000. Bwonna buliko ffuuti ezisukka mu 500.

 

THE CRESCENT MOON TOWER Dubai kye kimu ku bibuga ebisingamu ebizimbe eby’omulembe mu nsi. Eno gy’osanga Burj Khalifa ekisinga obuwanvu ne Dubai Mall ekisinga obunene mu nsi yonna. Kyokka bano buli lukya bongera kuyiiya. Kati bazimba ekizimbe ekifaanana ng’omwezi akabonero k’eddini y’Obusiraamu. Kya myaliiro 33 nga kizimbibwa ku Za’abeel Park, mu bukiika kkono bwa Dubai World Trade Centre.

 

AMASIRO G’E KASUBI: Wano tulina Amasiro g’e Kasubi we baziika Bassekabaka ba Buganda. Enzimba yaago ebadde esamaaliriza n’Abazungu okutuuka mu 2010 lwe gaakwata omuliro. Buganda ng’eri wamu ne Gavumenti eya wakati baatandika eddimu ly’okugazzaawo era omulimu gutambula bukwakku. Wabula mu 2001, gaafuuka UNESCO World Heritage Site

 

AMASIRO G’E KASUBI: Wano tulina Amasiro g’e Kasubi we baziika Bassekabaka ba Buganda. Enzimba yaago ebadde esamaaliriza n’Abazungu okutuuka mu 2010 lwe gaakwata omuliro. Buganda ng’eri wamu ne Gavumenti eya wakati baatandika eddimu ly’okugazzaawo era omulimu gutambula bukwakku. Wabula mu 2001, gaafuuka UNESCO World Heritage Site

 

 

THE CYBERTECTURE EGG Ekizimbe kino ekyazimbibwa mu kifaanannyi ky’eggi ly’enkoko kisangibwa Mumbai mu Buyindi. Pulaani yaakyo yakubibwa James Law Cybertecture International nga kiriko emyaliro 17. Ekizimbe kino kijjudde ofiisi z’abantu ne kkampuni. Baakozesa tekinologiya ew’omulembe nga bakizimba. Kitudde ku bugazi bwa 32,000sqm.