Omugagga afudde eby'obugagga n'abirekera abatalina mwasirizi; Omwami ye yasooka okufa omwana naddako n'omukyala abagoberedde!

Omugagga afudde eby'obugagga n'abirekera abatalina mwasirizi; Omwami yeyasooka okufa omwana naddako n'omukyala abagoberedde!

 Aba A Plus abakola ku by’okuziika nga batuusa omulambo gwe baggye ku Kadic e Bukoto.mu Katono ye mugenzi Wamala

Hellen Wamala 56, omu ku bakazi abasinga obugagga e Muyenga, yafudde mangu bwe yakwatiddwa ssenyiga.

Obugagga bwe bwonna alese abuwaddeyo buyambe abaana abatalina mwasirizi. Bba Rev. Atwoki Wamala ye yasooka okufa ne kuddako omwana waabwe yekka, kati famire yonna eweddewo. Alina amasomero ana okuli St Barnabas Primary School e Muyenga ne Muyenga High School. St. James Secondary School ne Charity College School e Kakomero mu Kibaale.

Alina faamu eri ku ttaka yiika 60 e Buwama. Okumpi n’amaka ge e Muyenga yazimbawo ekkanisa ya Kampala Evangelical Free Church era y’abadde Omusumba waayo omukulu. Abadde n’emmotoka okuli bbaasi, loole, kabangali n’ezoobuyonjo.

Abadde atambulira mu “Lexus” okuli ennamba y’obwannannyini “MAMA I”. Bba bwe yafa baamuziika mu luggya wakati e Muyenga, muwala waabwe Vivian Wamala Pearl bwe yafa mu December 2010 naye we baamuziika. Muky. Wamala naye wano w’agenda okuziikibwa leero ku ssaawa 10 ez’olweggulo. Muwala waabwe naye yafa mangu bwe yalumizibwa mu lubuto ne kizuulwa ng’alina ‘alusa’.

Mmotoka ye Lexus gy’abadde avuga.

Emirimu abadde agiddukanya ne Ignatius Miwanda omwana wa mwanyina era dayirekita w’amasomero gaabwe. “Muky. Wamala yafuuka maama kubanga ye yankuza. Yafunye ssennyiga ku Mmande ekiro ne tumuwa eddagala.

Ku Lwokubiri yeyongera okuba obubi ne tuyita omusawo we Dr Phiona Kalinda eyasazeewo tumutwale ku ddwaaliro lya Mukwaya General Hospital e Nsambya. Baamusindise mu Nakaseero Hospital okumukebera era ye n’asaba ku Lwokusatu bamutwale mu Kadic Hospital e Bukoto eri abasawo be. Eno gye fiiridde ku Lwokuna”, bwe yategeezezza.

Omugenzi abadde alabirira abaana abataliiko mwasirizi abasoba mu 2000, ng’ayita mu kibiina kye eky’obwannakyewa ekya “Christian Family Helpers”. Mu Kibiina kino mw’alese obugagga bwe bwonna bulabirire abaana abanaku. WAMALA Y’ANI Ye muwala w’abagenzi Immaculate Nabbagala(yafa 1976) ne Aloysius Ssebunya(yattibwa mu lutalo mu 1982) e Kisaagala Masulita mu Wakiso. Yasomera Kiziba Pulayimale e Masuliita, Namagunga .

Essomero lya Muyenga High School e Muyenga. Abadde alina amasomero ana mu bitundu aby’enjawulo.

Ng’ali mu yunivasite e Makerere mu 1985, n’asisinkana Rev. Wamala eyali asoma Byaddiibi mu ttendekero lya Pan African Christian College e Nairobi. Bba yalina okwolesebwa okuyamba abaana abatalina mwasirizi oluvannyuma lw’olutalo lw’okulwanyisa Obute olwatandikibwa Museveni mu 1981. Baasooka kupangisa ku Mawanda Road e Mulago we baatandikira ekibiina kya Christian Family Helpers (kino ky’alekedde obuvunaanyizibwa okukozesa obugagga bwe okulabirira abaana abanaku). Baatandikira ku baana bataano okuva ku Kaleerwe, oluvannyuma ne basengukira e Kanyanya ku lw’e Gayaza, gye baava okudda e Kyebando. Mu December 1987, bba yagenda okusoma mu Amerika olwo n’omukyala n’amwegattako.

Emirimu gy’okulabirira abaana baagirekera John Nuwagira ne Harriet Namusisi. Mu Amerika gye baakolera embaga ne bakomawo mu 1988. Baagula ettaka ku Sarah Namubiru, yiika bbiri e Muyenga okumpi ne International Hospital.

Wano we wali amaka gaabwe ne pulojekiti endala. Mu 1989

Bbaasi y’essomero.

baatandika essomero lya St Barnabas okusomesa abaana ku bwereere. Essomero bwe lyaggulawo ne balangirira nti okusoma kwa bwereere kyabayitirirako bwe baafuna abaana 2,000. Bazze bagaziwa ne bazimba erya siniya n’amalala abiri e Kibaale, bba (Wamala) gy’azaalibwa. Mu 2007, yagula ettaka e Buwama yiika 62, n’akolako faamu. Bino okubaawo, bba yali amaze okufa mu 1998 kyokka Muky. Wamala n’agenda mu maaso n’okugaziya pulojekiti.

YAtandikawo ekibiina ekirala ekya Christian Women Concerns okuyamba abakyala b’omu kkanisa. Obulamu bwe teyeewolangako mu bbanka, ssente aziggya mu bayamba abaana abasomera mu masomero ge n’abazadde abatono abasasulayo ku ssente. ELESE OBUBKA Abadde akubiriza abasajja okuyingiza bakyala baabwe mu mirimu gyabwe kubanga ye ekimuyambye ennyo ye bba okumulaga buli kintu.

Bwe yafa mu 1998, omukyala ng’alina obumanyirivu okuddukanya emirimu. Asobodde okuzimba amaka e Muyenga, amasomero ne pulojekiti endala.