Bayodde abavubuka ku Kaleerwe

Bayodde abavubuka ku Kaleerwe

 Abamu ku baakwatiddwa.

POLIISI y’oku Kaleerwe ekoze ekikwekweto mw’ekwatidde omuvubuka amanyiddwa nga Kinombe ne yunifoomu z’amagye z’abadde akozesa okubba mu bitundu bya Kawempe ebyenjawulo.

Abatuuze mu bitundu by’e Kanyanya, Kyebando, Mulago, Kaleerwe baludde nga balaajanira poliisi okubayamba ku bavubuka abatambulira mu byambalo by’amagye ekiro nga kyawalirizza poliisi y’oku Kaleerwe okukola ekikwekweto kino.

Baamukwatidde mumu Ddobbi gye yabadde akwese yunifoomu n’agibawa. Kinombe agamba nti we bamukwatidde nga yava dda mu bumenyi bw’amateeka.

Ekikwekweto kino kyayodde n’abavubuka abalala ng’abamu baasunsuddwaamu, abaasangiddwa nga tebalina mutawaana baayimbuddwa abalala ne batwalibwa mu kkooti.

Bayodde abavubuka ku Kaleerwe katale ka Freedom era bwe baamukunyizza n’abatwala tidde abadde yaakalokoka