Balonze akakiiko ku lipoota ya Mamerto

Balonze akakiiko ku lipoota ya Mamerto

MU Lukiiko lw’okuteesa ku musolo gw’amayumba n’okusomera bakkansala lipoota meeya Mamerto Mugerwa gye yaleka, abamu tebaamatidde na byasomeddwa.

Mu lipoota eyasomeddwa kkansala wa Kireka Ward, Nakanwagi Akameggenjovu, eyali Meeya wa Kira, Mamerto Mugerwa yalaga ensonga okuli; ettaka, ebyapa by’ettaka lya kkanso, tulakita, ennyumba z’abasawo, obutale okuli ak’e Bweyogerere n’ebirala nti byonna yabirekawo ekyawakanyiziddwa abamu ku bakansala okuli ne Sipiika, Frank Ssemukunti nti ebimu byakisiikirize.

Bakkansala okuli Eiru Andrew ow’e Bweyogerere, Winfred Ndagire, David Ssekiziyivu Muya ne Sarah Nassimbwa baasabye wateekebwewo akakiiko okulondoola ensonga eno. Meeya wa Kira, Julius Mutebi yabasabye buli omu afune kkopi ku lipoota eyo kimuyambe okufuna abanaamujulira ng’avudde mu ntebe.

Abamu ku bakkansala bano be baalondeddwa ku kakiiko. Oluvannyuma kkansala w’abavubuka, Siraje Lutaaya yasomye embalirira y’omusolo gw’amayumba ne basalawo gusigale obutundutundu buna ku 100 ate bagusomese abantu.