Obukooti bw'oku mazzi mulimu ebicupuli

OBUSEERE n'ebicupuli by'obukooti obutangira abantu okubbira mu mazzi bitabudde abeeyambisa entambula y'oku mazzi.

 Abasaabaze okuva ku bizinga eby'enjawulo nga baakatuuka ku mwalo g'e Masese mu Jinja. Bonna tekwabadde alina kakooti.

Ab'amaato agasaabaza abantu n'ebyamaguzi ku mwalo gw'e Masese ku nnynja Nalubaale mu disitulikiti y'e Jinja bagamba nti, wadde Gavumenti akubiriza abantu okwambala obukooti, tefuddeeyo kumanya mutindo gw'obwo obuyingizibwa mu ggwanga n'ekivuddeko ebicupuli okubeera ebingi ku katale.

John Walusansa ng'addukanya amaato agasaabaza abantu n'ebyamaguzi ku mwalo gw'e Masese agamba nti, omuntu waabulijjo omuli n'abavubi tebasobola kugula bukooti buli ku mutindo kubanga akakooti akali ku mutindo kagula ssente 100,000/- n'okugenda waggulu.

Obukooti buno okubeera ku beeyi eya wansi Walusansa agamba nti Gavumenti esaana kubuggyako musolo.

Wabula abakungu abavunaanyizibwa ku ntambula ku mazzi mu minisitule y'ebyenguudo n'entambula bawuniikiridde bwe baategeezeddwa nti, waliwo obukooti obutundibwa nga bukola gwa kumasamasa kyokka ng'obwambalwa aba bodaboda nga tebulina mugaso gwonna singa omuntu aba afunidde obuzibu mu mazzi.

Bino byabadde mu lukiiko lw'abeeyambisa omwalo gwa Masese olwatudde ku Masese Community Police Hall wiiki ewedde nga lwategekeddwa ekitongole ky'ebyetambula y'oku mazzi mu minisitule y'ebyenguudo n'entambula ku ngeri gye bagenda okutumbula obutebenkenvu ku maato agagobera ku mwalo guno.

Gonzaga Walusansa nga naye addukanya maato ku mwalo guno yagambye nti, batutte ekiseera nga banyigirizibwa olw'okubulwa abawabula ku mutindo gw'ebintu ebyeyambisibwa mu mulimu guno.

George Rukara kaminsona avunaanyizibwa ku ntambula y'oku mazzi mu minisitule y'ebyenguudo n'entambula yagambye Gavumenti ng'eyambibwako abagabirizi b'obuyambi baafuna ssente ez'okwongera obutebenkevu ku nnyanja Nalubaale, Kyoga ne Albert okuva mu African Development Bank.

Mu nteekateeka eno bagenda kuzimba ebifo ku myalo egy'enjawulo nga ne Masese, kw'eri awagenda okuteekebwa ebyuma n'amaato agagenda okutaasa abo ababa bafunye obuzibu nga bali mu nnyanja.

Era bagenda kussaawo nnamba z'amasimu ezitali za kusasulirwa omuntu afunye obuzibu kw'akuba okufuna obuyambi.

Ye Barnard Khabakha omukugu mu by'entambula y'oku mazzi mu minisitule eno yagambye nti bali mu ntekateeka okunyweza omutindo gw'obukooti.