Musisi alambudde enguudo ezikolebwa e Kawempe

ENGUUDO z’e Kawempe ezibadde zigenda okwekalakaasisa omubaka Latif Ssebaggala ne Meeya Mubaraka Munyagwa zitandise okukolebwa.

Bya Hannington Nkalubo ne Eria Luyimbaazi

ENGUUDO z’e Kawempe ezibadde zigenda okwekalakaasisa omubaka Latif Ssebaggala ne Meeya Mubaraka Munyagwa zitandise okukolebwa.

Kino kyaddiridde Dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi okuzirambula era n’atongoza omulimu gw’okuziddaabiriza ku Lwokuna okusobola okukkakkanya abatuuze.

“Njagala okubategeeza nti enguudo zonna erizi mu mbeera embi mu Kawempe tutandise okuzikolako era mbasaba mubeera bakkakkamu,” Musisi bwe yategeezezza ng’alambula okuguudo lwe Ttula olwabadde lugenda okuvaako okwekalakaasa.

Yagambye nti KCCA yafunye ssente okuva mu Banka y’ensi yonna ng’omulimu gwakasiddwa kkampuni ya ENERGO wabula nga mu kiseera kino KCCA eyingiddewo okuzidabirira ng’omulimu omukulu tegunnatandika.

Yagambye nti enguudo ezigenda okukolebwa mu Kawempe kuliko Kawempe –Ttula, Ttula – Mpererwe ne Bukoto – Kisaasi nga balinze omuwabuzi wa Gavumenti mu by’amateeka okukakasa kontulakiti eyaweereddwa kkampuni ya ENERGO.

Musisi alambudde enguudo ezikolebwa e Kawempe