Abasiraamu balumbye Kakeeto ku by'ettaka

ETTAKA ly’oku ssaawa ya Kkwiini mu Kampala eryakubiddwaako ebibaati litaanudde Abasiraamu bwe beeyiye mu kifo kino nga baagala babimenyewo n’okuyingira munda bafulumye Sheikh Amiru Kakeeto agamba nti lirye bwoya kyokka poliisi n’ebatangira.

 Bya Henry Ssennyondo ne Meddie Musisi                  

 
ETTAKA ly’oku ssaawa ya Kkwiini mu Kampala eryakubiddwaako ebibaati litaanudde Abasiraamu bwe beeyiye mu kifo kino nga baagala babimenyewo n’okuyingira munda bafulumye Sheikh Amiru Kakeeto agamba nti lirye bwoya kyokka poliisi n’ebatangira.
 
Abasiraamu ababadde baswakidde abeeyiye mu kifo kino, bamaze  kusaala Juma  e Nakasero n’abamu okuva mu mizikiti emirala ne boolekera ku ssaawa ya Kkwiini bayingire munda bafaafaagane ne Sheikh Amiru Kakeeto ne banne abaagumbye mu kifo kino okulikuuma.
 
Baaweze okufa n’omuntu okulwanirira ettaka ly’Obusiraamu obutatwalibwa Sheikh Kakeeto gwe baagambye nti alina abanene abamuli emabega abamukozesa bino basobole okulyezza.
 
Omumyuka w’omuduumizi wa poliisi mu Kampala South Metropolitan (SP) Mugisa, DPC wa poliisi y’e Katwe (ASP) Apollo Kateeba be bakkakkanyizza Abasiraamu bano ababadde beesomye nga batandise n’okukasuka amayinja.
 
Bagootanyizza entambula y’ebidduka ku luguudo lw’e Ntebe ng’abamu bali mu kkubo wakati beeswanta kuyingira munda mu kibaati kino basikeyo Kakeeto ekitaasobose, ne balaalika okuddayo ku Mmande bakole lolulumba ssinziggu.
 
Sheikh Kakeeto eyayogeddeko eri bannamawulire nga bino tebinnabaawo, yagambye nti ettaka lino lirye bwoya kubanga alirinako ebiwandiiko n’awa amagezi abamulwanyisa okugenda mu kkooti.
 
Ettaka lino lirudde nga likaayanirwa ebiwayi by’Abasiraamu eby’enjawulo. Sheilk Kakeeto Abasiraamu baamugoba e Nakasero nga bamulumiriza okutunda ebyobugagga byabwe omuli ettaka ly’Obusiraamu kati kwe kudda ku Clock Tower w’agamba nti alina ebiwandiiko byawo ebijjuvu.

Abasiraamu balumbye Kakeeto ku by''ettaka