Taata akawang'amudde- 'Nnasobezza ku mwana wange'

OMUTUUZE w’e Lubaga akwatiddwa poliisi lwa kusobya ku muwala we ow’emyaka 16.

Bya Annet Nalugwa

OMUTUUZE w’e Lubaga akwatiddwa poliisi lwa kusobya ku muwala we ow’emyaka 16.

Vincent Miiro Katabalwa ow’emyaka 44 omutuuze w’e Lubaga mu Bulwa Zooni yakwatiddwa poliisi y’e Kampalamukadde n’aggulwako omusango gw’okusobya ku muwala we (amannya gasirikiddwa) asomera mu Uganda Matyrs High School e Lubaga mu S3. Omusango oguli ku fayiro nnamba SD 27/27/2/2012.

Maama w’omuwala,  Josephine Nakityo ye yaloopye  ku poliisi y’e  Lubaga nga kigambibwa nti muwala we yamusinsikanye n’amutegeza nga bwatadda wa kitaawe kuba amusobyako ng’agamba nti amuwa mikisa, nnyina kwe kuloopa Katabalwa ne bamukwata ng’ava okusaba ku Klezia e Lubaga ku Mmande. 

Katabalwa atambuza amasimu, amasaati n’empale agamba nti okutuuka okusobya ku muwala we yali anywedde omwenge n’ebiragala bye bayita kubar.

Maama w’omwana ono yanoba olwo nafunayo omukazi omulala kyokka naye n’agenda mu May wa 2011 oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya  Katabalwa n’asigala n’abaana be.

Kyokka mu January w’omwaka guno abaana be abalala kwe kubatwala bakyale. Wano we yafunira akakisa n’ategeezza muwala we nti amuteekemu omukisa olwo n’amusobyako.

Katabalwa baamututte mu ddwaaliro n’akeberwa omutwe n’okuzuula oba alina akawuka akaleeta siriimu kyokka n’azuulibwa nti tamulina.
Akulira  poliiisi y’e Kampalamukadde, Siraji Bakaleke yakakasizza nti  Katabalwa yakwatiddwa n’aggalirwa.

Taata akawang''amudde- ''Nnasobezza ku mwana wange’