Mukomye ebikolwa eby'obukambwe ku baana - Kalidinaali Wamala

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabudde Bannayuganda bakomye ku bikolwa eby’obukambwe ebituusibwa ku baana n’abantu abakulu

Bya Henry Ssennyondo, Benjamin Ssebaggala, Silvano Kibuuka, Moses Lemisa.

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabudde Bannayuganda bakomye ku bikolwa eby’obukambwe ebituusibwa ku baana n’abantu abakulu n’agaba  nti tebiraga kitiibwa na muwendo gwa bulamu bwa Yezu Kristu bwe yawaayo okufiiririra ensi n’aginunula mu njegere za sitaani.

“Byolaba ebikolwa eby’obukambwe ebiri mu ggwanga ebituusibwa ku baana n’abantu abakulu biyinza okukwewuunyisa kubanga tebiraga  kujulira Kristu. Osseeko abasibibwa mu makomera ne beerabirwa, abakasukibwa ku kabangali n’okusambibwa. Tubeere bajulirwa ba Kristu tusigale nga tukola ebikolwa ebirungi nga tuyamba abateesobola,” Kalidinaali Wamala eyasomye Mmisa eyookusatu mu Klezia ya St. Peter’s e Nsambya eggulo bwe yategeezezza.

Yakubiriza Abakristu bave mu by’edda n’ebikolwa eby’obukafiiri abantu mwe baali basibiddwa ku njegere za sitaani balongoose emitima gyabwe kubanga Kristu yawangula olumbe abantu ne bafuna obulamu obuggya.

E NAMIREMBE:  Omuwalabirizi w’e Namirembe, Wilberforce Kityo Luwalira yagambye nti Uganda ng’eweza emyaka 50 wabeerewo obwenkanya obugagga butuuke ku buli muntu kyenkanyi, okusosolebwa mu mawanga nakwo kukomezebwe kubanga byonna binnyika eggwanga.

Omusumba Sserwadda ng'abuulira

Bino yabyogedde abuulira mu kusaba kw’Amazuukira ku Lutikko e Namirembe ku Ssande n’alabula nti abasibe bonna balamulwe kyenkanyi baleme kutaako abamu abalala ne babaleka okuvundira mu makomera.

“Nga tukyali mu kusosolegana mu mawanga n’okulemwa okugabana eby’obugagga by’eggwanga eky’enkanyi, twetaaga okusumululwa,” Bp. Luwalira bwe yakkaatirizza.

Omulabirizi Rt. Rev. Luwalira Kityo ng'abuuza ku Polof. Apollo Nsibambi

Okusaba kwetabiddwaamu  omulamuzi wa kkooti ejulirwamu, Steven Kavuma, Katikkiro wa Uganda eyawummula Prof. Apolo Nsibambi, omwogezi wa Palamenti Hellen Kaweesa, Ssentebe w’olukiiko lw’abataka, Allan Nakirembeka Waliggo n’abalala.

YEZU KABAKA: Fr. John Bosco Magandazi owa Christ The King e Kampala yagambye Bannayuganda bettanire okukyuka nga Omutukirivu Simon Peter eyakyuka n’akkiriza nti ddala Yezu yali mwana wa Katonda.

Ng’ayigiriza ku Paasika mu Klezia ya Christ The King mu, yagambye nti ekigambo ky’Oluzungu ekya ‘Change’ abantu abamu naddala bannabyabufuzi tebaagala kukiwuliza ne balemera ku ‘No Change’ so nga ke kamu ku bubonero obwaliwo nga Yezu azuukidde abantu bangi abaali balina okubuusabuusa bakyuka. 

NDEEBA: Omusumba Joseph Serwadda ow’Ekkanisa ya Victory Christian Centre mu Ndeeba avumiridde bannaddini abakyawakana nti Yesu te yafa.

 

“Nze ndaba bannaddiini bano balina ekikyamu ate ekisinga okunnewuunyisa abamu bagamba nti teyafa abalala nti yazuukira wano kibalagirawo nti bali ku ludda lwa sitaani abaasaana okwongera okusabirwa,” Sserwadda bwe yategeezezza.

Sserwadda yavumiridde n’abasawo abalimba abantu nti bwe bakomolebwa tebakwatibwa siriimu n’abasaba bakomye okubuzaabuza eggwanga.

ST. AGNES KIBUYE-MAKINDYE: Fr. Denis Walugembe yagambye nti obubbi, obukumpanya bikyafumbekedde mu bitongole nga Gavumenti ebireetedde n’abantu okubanga tekyali yeesiga munne mu buli kintu n’amalwaliro okubulwamu eddagala.

Fr. Walugembe yagambye nti n’ebikolwa eby’okukuba abantu obutayimbwa biva ku bucaayi n’obuggya n’asaba Abakristu okwegobako ebikolwa ebinyiiza bannaabwe.

 

Mukomye ebikolwa eby’obukambwe ku baana - Kalidinaali Wamala