Atigomya ab'oku Kaleerwe akubye abaserikale

AKULIRA ekibinja ky’ababbi ku Kaleerwe ekya ‘sirimu’ akubye abaserikale bwe babadde bamukwata oluvannyuma lw’okumunoonyeza ebbanga eggwanvu.

Bya MOSES LEMISA

AKULIRA ekibinja ky’ababbi ku Kaleerwe ekya ‘sirimu’ akubye abaserikale bwe babadde bamukwata oluvannyuma lw’okumunoonyeza ebbanga eggwanvu. 

Emmanuel Dumba 22 omutuuze w’omu Good Hope Zooni nga kigambibwa nti y’akulira ekibinja kya ‘Sirimu’ ku Kaleerwe yakkakkanye ku baserikale ba Poliisi n’abeggye ezzibizi okuva mu Ofiisi ya RCC, Yayaha Kakooza n’abakuba bwe babadde bamukwata. 

Dumba ekibinja ky’akulira ekya ‘sirimu’ kimenya amayumba n’okuteega abantu ne babakuba eranga si gwe mulundi ogusoose nga Poliisi emukwata kyokka n’ayimbulwa.

Ku luno abatuuze baamaze kwemulugunya nti singa anaaba takwatiddwa olwo poliisi ejja kuba terina by’ekola. Oluvannyuma lwa Poliisi okutemezebwako omu ku batuuze nti Dumba yabadde ali awaka baamuzinzeeko n’asooka abakuba ebikonde n’okubasamba wabula mu kulwanagana kuno Dumba empale zaayulise. 

Oluvannyma Maama wa Dumba amanyiddwa nga Nnaalongo naye olutalo yalweyunzeeko n’agamba abaserikale nti mutabani we si mubbi bamuwaayiriza. Yakutte mutabani okugulu n’agamba abaserikale nti tebalina gye bamulaza.

‘‘Munkube amasasi naye temugenda kumuggya wano kuba nammwe abamu ku baserikale muli babbi,” Nnaalongo bwe yategeezezza. Poliisi yasobodde okuwangula olutalo n’etwala Dumba nga kati akuumirwa ku Poliisi y’e Wandegeya. 

Akulira Poliisi y’oku Kaleerwe, William Oribariho yategeezezza nti basigazizza kukwata Jamir, Kairasi ne Yunusu nga bano be bamyuka ba Dumba mu kibinja kya Sirimu. Omusango gwa Dumba guli ku fayiro nnamba SD:19/13/06/2012.

Atigomya ab’oku Kaleerwe akubye abaserikale