Kajubi asibiddwa mayisa

OKUMALA emyaka ena bukya omwana asaddaakibwa ng’asalwako omutwe ne basanga kiwuduwudu ate omutwe ne gubulwako amayitire, omuwaawabirwa Kajubi abadde yeegaana okwenyigira mu kikolwa kino, okutuusa eggulo mu kkooti y’omulamuzi Mike Chibita lwe yagumusingisizza.

Bya Ali Mambule

OKUMALA emyaka ena bukya omwana asaddaakibwa ng’asalwako omutwe ne basanga kiwuduwudu ate omutwe ne gubulwako amayitire, omuwaawabirwa Kajubi abadde yeegaana okwenyigira mu kikolwa kino, okutuusa eggulo mu kkooti y’omulamuzi Mike Chibita lwe yagumusingisizza.

Ng’ayita mu munnamateeka we Fred Kamugunda yasabye omulamuzi eyabadde amaze okumusingisa omusango, nti yabadde amenyese era  takyaddamu kwenyigira mu bikolwa ebiringa ebyo era n’asaba aweebwe ekibonerezo ekisaamusaamu.

Omulamuzi naye teyabadde mubi n’agamba nti:  “Nkimanyi bulungi nti guno gwe mulundi gw’omuwawaabirwa gwasoose okuleetebwa wano mu kkooti okuggulwako omusango ogufaanana bwe guti kyokka mu kiseera kye kimu abazadde bangi bakaaba olw’ebikolwa ebifaanana ng’ebya Kajubi eby’okusaddaaka abaana baabwe kale nkizudde nga tosaanidde kuweebwa kibonerezo ekisinga obunene eri oyo abeera azzizza omusango nga guno naye era osaanidde okubeera ewala ddala n’abaana ba banno olwo abazadde bafune ku buweerero,’ omulamuzi bwe yagambye mu nsala ye n’amuwa ekibonerezo kya kusibwa mayisa mu kifo ky’okumusindika ku kalabba.

Omusango gwabadde gwakusalwa ku ssaawa 4.00 ez’oku makya era Bannamasaka baabukeerezza nkokola ne beeyiwa mu kkooti y’omulamuzi Mike Chibita okubaawo ng’abajulizi ng’ayimbula nnaggagga w’omu Kampala, Godfrey Kato Kajubi oba ng’agumuzingisa.

Ku ssaawa 8.00 n’ekitundu omulamuzi Mike Chibita owa Kkooti Enkulu e Masaka yabadde amaze okutereera mu ntebe ye era bwatyo n’asalira Godfrey Kato Kajubi omusango gw’okwenyigira mu kusaddaaka omwana Joseph Kasirye eyali abeera ne jjajjaawe e Kayugi mu ggombolola y’e Mukungwe e Masaka nga October 27, 2008.

Ye omuwaabi wa gavumenti Suzan Okalanyi abadde akulembeddemu oludda oluwaabi,  yasabye omulamuzi okujjukira nti abazadde bangi bakaaba olw’abaana baabwe abattibwa mu ngeri enkambwe nga Kasirye gye yattibwamu. Okalanyi abadde akolera wamu ne JB Asiimwe.

 “Tewali nsonga lwaki Kateregga eyatwala obuvunaanyizibwa n’abuulira poliisi awaali waterekeddwa ekiwuduwudu ate yandigaanye okutegeeza poliisi y’emu wa omutwe we gwali guterekeddwa wamu n’ebitundu bye ebyekyama era kino kye kimu ku bikakasa nti osanga Kateregga ne mukyalawe tebaamanya wa omutwe ogwo gye gwatwalibwa,” Omulamuzi Chibita bwe yategeezezza.

Ku kya Kajubi okwegaana essimu eyamukubirwangako entakera ku lunaku omwana lwe yattibwa ate nga n’aba kkampuni ya MTN baakikakasa nti yali agyogererako ku mulongooti gwe gumu n’ewali ekifo omwana weyattirwa, omulamuzi agambye nti kyewuunyisiza ddala okubeera nga Kajubi teyatwala buvunaanyizibwa kuloopa ku poliisi nti essimu ye yali emubuzeeko ate n’atwala ebbanga lya mwezi mulamba nga era tagigoberedde.

 Kajubi yategeeza kkooti gye buvuddeko nti essimu eno yali agirekedde omulangira Ssuuna eyali nnannyini kifo ewanyigirwa emibiri (Massage) ekimanyiddwa nga Sauna mu kibuga Masaka.

Kuno omulamuzi annyonnyoleddeko nti newankubadde nga kituufu nti Kateregga azze alimba kkooti n’abantu abalala mu musango guno, nti naye waliwo ebintu ebisinga okukola amakulu mu gwo by’alabikira ddala ng’abadde agibuulira mazima gennyini.

EBIBIINA BY’ABAANA BYOGEDDE

ABEBIBIINA ebirwanirira eddembe ly’abaana bategeezezza nti ekibonerezo ekiweereddwa Kato Kajubi eky’okumusiba amayisa waakiri kisingako wali we yali alekeddwa okuyinaayina.

“Ekyo kirungi era kisobola okuyambako okutiisa abalala abandibadde balowooza nti osobola okutta omwana oba okumutulugunya n’osimattuka,” akulira eby’emirimu mu kibiina kya Raising Voices Peter Bahemuka bwe yategeezezza.

Ate ab’ekibiina ekirala ekya ANPPCAN nakyo ekitakabanira eddembe ly’abaana bagambye nti basanyukidde omulamuzi eyasibye Kajubi kuba kigenda kuyamba okulabula  abalala ababadde n’omuze gw’okutta n’okutulugunya abaana.

 

Kajubi asibiddwa mayisa