Museveni ayogedde lwaki NRM ewangulwa

PULEZIDENTI Museveni agambye nti okusinziira ku bamu ku beegwanyiza okumusikira gye bagujubanira obusika ng’akyaliwo, kimutuusizza okugamba nti k’agira asigalawo.

Bya ahmed kateregga

PULEZIDENTI Museveni agambye nti okusinziira ku bamu ku beegwanyiza okumusikira gye bagujubanira obusika ng’akyaliwo, kimutuusizza okugamba nti k’agira asigalawo.

“Abagamba nti Museveni agende, nandibadde nagenda dda, naye bw’obatunuulira, ogamba nti emmotoka (agiralambaza) agitwala wa? Kangire nga nkyali wano,” bw’atyo Mw. Museveni bwe yategeezezza wakati mu mizira egyabadde gimukubirwa bakauyege n’ayongerako nti “... Naye omulabirawo ne weebuuza nti: Oba atandise ayo nga nkyaliwo? Bwe nnaamulekera binaaba bitya?”

 AGENDA KULONDA SSAABAWANDIISI

Mw. Museveni era yategeezezza nti ekisudde abasimbiddwaawo NRM mu kulonda kw’okujjuza ebifo ebyereere mu bitundu ebisinga obungi, lwa kuba ekibiina tekirina Ssaabawandiisi yeemalidde ku mulimu ogwo gwokka. 

“Olw’okuba Ssaabawandiisi yalondebwa lukiiko Ttabamiruka ate nga sinnafuna nsimbi ziddamu kulutuuza, ng’enda kulondawo Ssaabawandiisi wange agire ng’addukanya emirimu gy’ekibiina okutuusa ng’olukiiko ttabamiruka lulonze Ssaabawandiisi omulala,” bw’atyo Pulezidenti bwe yagambye bakakuyege ne bamukubira enduulu ey’oluleekeleeke.

Bino byabadde mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe ku Lwokuna ekiro bwe yabadde ayogera mu bakakuyege ba NRM abakununkirizza mu 200 abaavudde mu bitundu bya Buganda byonna okuggyako Kampala. Baakulembeddwa omumyuka wa ssentebe wa NRM atwala Buganda, Al-Haji Abdu Nadduli eyabadde n’omuwandiisi Mw. Kalule Sengo, ow’okunoonyereza Mutebi Kityo, omukwanaganya Haji Sulaiman Walusimbi, ow’abavubuka Ssebina Ssekitooleko n’abalala.

Abalala kwabadde abakulira bakakuyege mu bitundu; East Buganda, Haji Mayanja Njuki, West Buganda, Ying. Ndawula Kaweesi, South Buganda, Vincent Kityamuweesi, South West Buganda, Hajati Fatuma Namugula, North Buganda, Sempala Kigozi ne Central Buganda, Haji Muhammad Kabanda. Kwabaddeko bassentebe ba NRM mu Disitulikiti omwabadde owa Rakai era nga ye Minisita w’ebyamazzi n’obutonde, Maria Mutagamba, owa Kiboga era nga ye Minisita omubeezi ow’ebyobuvubi, Ruth Nankabirwa, owa Rakai, James Kakooza, owa Bukomansimbi Haji Idi Lubyayi Kisiki n’abalala.

 NADDULI ALOOPYE ABASOJJAGANA

Haji Nadduli yaloopedde Pulezidenti nti yakoze okunoonyereza n’akizuula nti aba NRM ekyabawanguza e Ntebe, Luweero ne Bukoto South lwa kulyang’ana okuli mu NRM ng’abakulu abamu tebalimira wamu kambugu.

Yanokoddeyo e Butambala awali okulonda okubindabinda nti omumyuka asooka owa ssentebe Al-Haji Moses Kigongo battunka n’eyali omubaka waayo, Haji Lubega Kaddunabbi.

Mw. Museveni kwe kumuddamu nti “Nze ekituwanguza nkimanyi, tetulina Ssaabawandiisi atalina mulimu mulalala eyandibadde yeemalira ku mulimu gw’ekibiina gwokka, eyandibadde yeetegekera edda ebyokulonda ng’okw’e Butambala nga n’emisango gikyali mu kkooti.” 

Mw. Amama Mbabazi agatta obwassaabawandisi bw’ekibiina ‘obwakatikkiro bwa Uganda era yali yeeyama mu kabondo ka NRM nti ajja kulekulira obwassaabawandiisi kyokka kigambibwa nti mu lukiiko olufuzi olwasembayo yategeeza nti tasobola kweggyamu bwesige abalonzi e Namboole bwe baamussaamu.

EKIBBATTAKA E LUWEERO

Haji Nadduli yeemulugunyizza ne ku kibbattaka ekiri e Luweero gye yagambye nti abantu abeeyita ab’omu maka g’Obwapulezidenti bagobaganya abantu mu bibanja. 

Pulezidenti yalagidde bakwatibwe ababalemerera babaloopere omuyambi we, Brig. Proscovia Nalweiso n’agamba nti ne bwe baba Banyankole si baganda be, “Baganda bange abatuufu be bammwe bwe tulina endowooza emu,” bwe yagambye n’anokolayo Dr. Kiiza Besigye nti wadde Munyankole munne, naye mulabe we mu byobufuzi.

BAMUSABYE ENKOKO N’ENTE

Ku bwavu obuyitiridde naddala mu bakulembeze ba NRM, Haji Nadduli yamusabye ne Buganda agikolere enteekateeka ey’enjawulo nga gye yakoledde amagomblola abiri e Gomba gy’agabye ente, embuzi n’enkoko awamu n’e Busoga gye yalonze omuyambi akoole ku nsonga y’emu. 

OLUKIIKO LUDDAMU AUGUST 9

Pulezidenti yamusabye ajje n’enteekateeka enkuukutivu ku nsonga eno agikoleko. Olukiiko luddamu ku Lwokuna nga August 9, omwaka guno.

 

Museveni ayogedde lwaki NRM ewangulwa