Omubaka Mohamed Nsereko ayimbuddwa

POLIISI ekutte omubaka wa Kampala Central Mohamed Nsereko nga kigambibwa nti abadde agezaako okukunga abantu bazinde Crane Bank bekalakaase n''okutataaganya emirimu nga bawakanya ebyogerwa nti yakolayo emivuyo gya ssente.

Bya Angel Lubowa,Hannington Nkalubo ne Eria Luyimbazi

POLIISI ekutte  omubaka wa Kampala  Central Mohamed Nsereko nga kigambibwa nti abadde agezaako okukunga abantu bazinde Crane Bank  beekalakaase n'okutataaganya emirimu  nga bawakanya ebyogerwa nti yakolayo emivuyo gya ssente.

Kyokka Nsereko  eyaggyiddwa ku Majestic Plaza  olutuusiddwa ku CPS n'agaana okukola sitatimenti ng'agamba nti abadde teyeetegese ekiwalirizza poliisi okumuyimbula oluvannyuma  lw'essaawa 2 ng'emulina.

Nsereko ategeezezza ab'amawulire nti  "Bye bambuuza ebyemivuyo mu bbanka sirina kye mbimanyiiko era ng'aanye okumala gakola bi sitatimenti bye simanyiiko kigendererwa na mayitire"

Eno y'entandikwa ya poliisi okukwata Nsereko  okubuuzibwa ku mivuyo gy'obufere mu bbanka ya Crane  poliisi gye yagambye nti gyafiiriza bbanka eno obukadde 290 ezaakazuulwa.

Omubaka Nsereko ng'afuluma ku CPS gy yabadde aggaliddwa okumala ebbanga lya ssaawa 2. Ekif: Hannington Nkalubo

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Ibin Ssenkumbi yategeezezza ab'amawulire mu kaseera Nsereko we yabadde yeenyoolera ne poliisi eyabadde emulagira okukola sitatimenti nti aba Crane bank baagituukiridde okubayamba ku emivuyo gy'obufere egigambibwa okwenyirwamu ne Nsereko .

"Twaleese abakozi ba Crane Bank ne baggyibwako sitatimenti ku mivuyo gya ssente obukadde 290 era okubuuliriza kukyagenda mu maaso" Ssenkumbi bwe  yategeezezza.

Nsereko ng'asanyuka n'abawagizi be . Ekif: Hannington Nkalubo

Kyokka yagaanye okwogera oba abakozi abaakoze sitatimenti baalumirizza Nsereko okwenyigira mu by'obufere ng'agamba nti ebyakafunika byabadde bya kyama.

Wabula yategeezezza nti ku Mmande mu ttuntu poliisi yayitiddwa aba Crane Bank okubayamba okukakkanya Nsereko eyabadde yeesalidde akajegere mu bbanka bwe baabaddeko bye bamubuuza ne batya nti kyabadde kiyinza okussa bbanka n'abakozi mu kaseera  akazibu.

 Omubaka Muhamad Nsereko ng'ayisa ebivvulu ku Buganda Road oluvannyuma lw'okuyimbulwa ku CPS. Ekif: Hannington Nkalubo

Mu kiseera poliisi we yeetolooledde ekitebe kya bbanka eno ku Kampala Road nga Nsereko ali munda era amawulire gasaasaanye nti baabadde bamulemedde oluvannyuma lw'okukizuula nti aliko ssente ze yafuna ezisinga kw'ezo ezaali  ku akawunti ye.

Nsereko ng'ajaganya n'abawagizi be ku Buganda Road. Ekif: Hannington Nkalubo

Nsereko ne Hajji Munyagwa nga bayisa ebivvulu mu Kampala nga poliisi yaakabayimbula. Ekif: Hannington Nkalubo

Nsereko eyawakanyizza bino ku Mmande ekiro ng'avudde mu bbanka mwe yakukusiddwa okufulumizibwa abantu baleme kumukung'aanirako eggulo yazeemu okutegeeza ab'amawulire nti byonna ebimubuuzibwa ku mivuyo gya bbanka talina ky'abimanyiiko.

Omubaka Mohamed Nsereko ayimbuddwa