Ab'omu Ndeeba balumbye poliisi okuginya ababatigomya

ABATUUZE b’omu Ndeeba bn’abasuubuzi balangidde abapoliisi okukolagana n’abamenyi b’amateeka abazze bakwatibwa ne babalyangako enguzi ne bayimbulwa olwo ne baddayo mu bitundu okubatigomya.

Bya HENRY SSENYONDO

ABATUUZE b’omu Ndeeba bn’abasuubuzi balangidde abapoliisi okukolagana n’abamenyi b’amateeka abazze bakwatibwa ne babalyangako enguzi ne bayimbulwa olwo ne baddayo mu bitundu okubatigomya. 

Baagambye nti LC ejja n’ekolagana ne poliisi positi y’ekitundu kyabwe okukwata abamenyi b’amateeka omuli n’abatunzi b’enjaga kyokka olutuusibwa ku poliisi ne bakola omukwano n’abaserikale ne babalyako ssente ne babata. 

Okulangira abapoliisi bano, baabadde mu kutambula nga basomesa abantu okubabuulira obuzibu bwe basanga mu bitundu byabwe kye bayita “Community Policing” nga baakulembeddwamu (SP) Charles Mugisha, (ASP) Ishaka Kyagulanyi, (AIP) Sam Nabongho n’abalala. 

Abasuubuzi b’embaawo beemulugunyizza ku beefuula bakaasitoma ne babatwalako ebyamaguzi byabywe ne batabasasula. Aba wooteeri n’ebirabo by’emmere nabo beemulugunyizza ku babalyako emmere ne batasasula. 

Baanenyezza abapoliisi okukozesanga amaanyi agasukkiridde ng’egenda okukwata omuntu mu bitundu byabwe. Baawadde eky’okulabirako nti abapoliisi 20 okugenda okukwata omuntu oluusi kiraga nti bakyabulamu mu kutendekebwa ne basaba ensonga ezimu basooke bazimalirenga ku LC ezigonjoole. 

Oluvannyuma abaserikale abaakulembeddwamu (SP Philbert Waibi, (IP) Hussein Nsobya baasomesezza abantu ku bikolwa eby’obutujju ne bannalukalala nga beeyambisa kompyuta. 

Baalabudde abantu okubeera abeegendereza ku bintu byonna bye balaba nga tebategedde bategeerezeewo mangu poliisi okusobola okuziyiza obubenje n’obulamu okutokomoka.

Ab’omu Ndeeba balumbye poliisi okuginya ababatigomya