Gavt. etukkirize tubuulire ababaka empisa - Bp. Luzinda

OMULABIRIZI w’e Mukono eyawummula, Eria Paul Luzinda, asabye Gavumenti ekkirize Abasumba bayingire e Kyankwanzi babuulire ababaka abali mu lusirika enjiri era mu ngeri y’emu babakkirize bayingire palamenti babuulire ababaka beeyongere empisa.

BENJAMIN SSEBAGGALA 13/01/2012

OMULABIRIZI w’e Mukono eyawummula, Eria Paul Luzinda, asabye Gavumenti ekkirize Abasumba bayingire e Kyankwanzi babuulire ababaka abali mu lusirika enjiri era mu ngeri y’emu babakkirize bayingire palamenti babuulire ababaka beeyongere empisa.

Yabyogedde abuulira ku kkanisa ya Makaayi e Nateete ku Ssande nga batongoza ebikujjuko by’okukuza emyaka 100 bukya Makay azimba Kkanisa eno ku mukolo ogwabaddeko omulabirizi w’e Namirembe, Wilberforce kityo Luwalira, n’omumyuka wa Pulezidenti Kiwanuka Ssekandi.

“Twetaaga okugenda mu palamenti tubuulire ababaka beeyongere okufuna empisa omukisa bwe gubeerawo ne kabineeti ng’etudde tugende ne Kyankwanzi twetaaga okutuukayo” Luzinda bwe yaggumizza.

Yakukkulumidde Abakristaayo abakodo abagenda mu bivvulu by’abayimbi ne basasula obuwanana, kyokka mu Kkanisa ne batona kinusu kya 500/- oba 1,000/-, era n'alabula ne ku nguzi emaamidde eggwanga.

Ssekandi yasabye wabeerewo okuwang’ana ebitiibwa mu bakulembeze era n’ajuliza ebyawandiikibwa mu Matayo 22:21 nti ebya kayisaali babireke bibeere bya kayisaali n’ebya Katonda bibeere bya Katonda.

Mu kaweefube w’okuzimba Ekkanisa galikwoleka, Ssekandi yawaddeyo obukadde 2. Ssaabadinkoni w’ e Nateete, Ven. Can. Henry Ntulume yategeezezza nti ebijaguzo byakutambula wiiki eno yonna era omulimu bajja kugumaliriza kubanga bamalirivu.

Omusikooti Stuart Mackie ye yakiikiridde abooluganda lwa Makay ku mukolo.

Gavt. etukkirize tubuulire ababaka empisa e Kyankwanzi-