Mandela bamusiibudde mu ddwaaliro

EYALI Pulezidenti wa South Afrika, Nelson Rolihlahla Mandela asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze emyezi kumpi esatu ng’olumbe lumubala embirizi.



 JOHANNESBURG, Ssande

EYALI Pulezidenti wa South Afrika, Nelson Rolihlahla Mandela asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze emyezi kumpi esatu ng’olumbe lumubala embirizi.

Mandela ow’emyaka 95 yasiibuddwa okuva mu ddwaaliro lya, Medi-Clinic Heart Hospital mu kibuga Pretoria  gy’amaze ennaku 87  n’azzibwa mu maka ge e Houghton mu kibuga Johannesburg.

Wabula ofiisi ya Pulezidenti wa South Afrika, Jacob Zuma yategeezezza eggulo nti wadde Mandela yasiibuddwa, embeera ye ekyali bwetyo bwetyo, tali bulungi nnyo wabula abasawo abamuliko basazeewo nti obujjanjabi bw’abadde afunira mu ddwaaliro asobola okubufunira awaka.

Ensonda mu ba famire ya Mandela zaategeezezza nti waliwo ekisenge eky’enjawulo mu maka ga Mandela  abasawo kye baataddemu  ebyuma  n’ekitanda eky’eddwaaliro okufaananako nga ‘Waadi’ era omwo Mandela mw’ajja okubeera ng’abasawo bamuliko essaawa 24.

Mac Maharaj, Omwogezi owa  Pulezidenti Zuma yategeezeza mu kiwandiiko eggulo nti embeera ya Mandela erongoose nnyo mu wiiki eziyise era abadde asobola n’okwogera n’okutuulako wansi kyokka abasawo bamwagaza okuwummula ennyo.

Yagambye nti amaka ga Mandela  gakoleddwa mu ngeri eyenjawulo okutuukana n’ebyetaago by’eddwaaliro, ng’abasawo bwe baalagidde era kwe kusalawo okumuzza awaka.

Maharaj yeebazizza bannansi ba South Afrika olw’essaala n’obuwagizi bwe balaze Mandela ebbanga ly’amaze mu ddwaaliro

Mandela bamusiibudde mu ddwaaliro