Kkooti eyatta abantu 2 kkooti y'amagye emusibye emyaka 30

Omujaasi ali ku ddaala lya Sgt. asingisiddwa mu kkooti y’amagye omusango gw’obutemu n’asibwa emyaka 30. Sgt. Robert Okiror omu ku balwanye ntalo ez’amaanyi ng’olwa Kony, ADF Central Africa n’olwa Somalia, yasibiddwa ku musango gw’okutemula abantu babiri.



Bya  Ali Wasswa

Omujaasi ali ku ddaala lya Sgt.  asingisiddwa mu kkooti y’amagye omusango gw’obutemu n’asibwa emyaka 30.
Sgt. Robert  Okiror omu ku balwanye ntalo ez’amaanyi ng’olwa Kony,  ADF Central Africa n’olwa Somalia,  yasibiddwa ku musango  gw’okutemula abantu  babiri.

Kkooti y’amagye eyatudde e Kisoro ku Lwokutaano nga yakuliddwa, Col. Geoffrey Mujuni,  ye yasingisizza omujaasi ono omusango.  Kkooti yategeezezza abaabaddewo nti omujaasi ono nga December 28 omwaka oguwedde yakwata emmundu y’ekika kya SMG  n’akuba  abantu babiri Teopista Nyiramigisha ne munne Peninah Kampiire amasasi n’abatta.

Omujaasi yakkirizza okuzza omusango n’ategeeza nti kino yakikola lwa busungu omukazi bwe yayagala okumutta n’akwata  oluku amukube. Olutalo luno kigambibwa nti lwava ku kumusaba kaadi ya ATM  gye yali amuteresezza ng’akitegedde nti omusaala gumaze okuyingirawo.

Omujaasi mu kwewozaako yategeezezza nti bukya ayingira magye, tazzangako musango gwonna naddala mu ntalo z’alwanye nga kino kyamutuukako mu ngeri gy’ataayagala. Yasabye kkooti etunule mu birungi  by’akoledde eggwanga lye.

Col.  Mujuni yateegeezezza nti omujaasi ono wadde nga waaliwo okuyombagana ne Nyiramigisha, we yatambulira okugenda mu bbalakisi okunona emmundu kyali kimusobozesa okukendeeza ku busungu n’atakola kikolwa kino.

Yategeezezza nti mulimu gwa UPDF okukuuma abantu sso si  kubattazebwa.

Yategeezezza nti wadde ng’omugenzi yalina ensobi, teyalina kumutta n’atwaliramu n’ataalina musango.

Wabula abantu  b’omu kibuga Kisoro baalumiddwa nnyo omujaasi ono okukaligibwa emyaka gino gyonna nga bagamba nti okufa kw’omukazi ekibuga Kisoro kyassa ku kikkoowe kubanga yali mukazi muzibu mu kukuba abasajja naddala ababa bamukwanye.

Abantu era baasondedde Okiror ssente ne bazimuwa ng’ali ku kabangali ya poliisi atwalibwa mu kkomera.
  

Kkooti eyatta abantu 2 kkooti y''amagye emusibye emyaka 30