
BYA HELLEN NAGAWA
POLIISI y’e Kawempe ezudde emmundu endala ng’ekwekeddwa mu kasaka akali mu Kazo Central Zooni ng’ezingiddwa mu kiteeteeyi.
Emmundu yalabiddwa Muky. Rehema Kaddu eyabadde alima wo n’akubira poliisi y’e Kawempe essimu eyayanguye okujja okuginona.
Emmundu eyabaddeko ennamba UG POL 59214102492, yonna yabadde ebunye ettaka nga kuwandiikiddwaako Dokita Kanyanya.
Eno y’emmundu eyokusatu okuzuulibwa e Kawempe mu bbanga lya myezi ebiri ng’eyasooka yazuulibwa Nammere, endala n’esangibwa e Kawempe mu Kizza zooni.
Aduumira poliisi y’e Kawempe, Patrick Alinyo yagambye nti bagguddewo omusango ku fayiro SD:09/10/04/2014.