Kalungi eyavaako okufa kwa Nebanda aziddwaayo e Luzira

ADAM Kalungi eyali muganzi w’eyali omubaka wa Butalejja mu Palamenti, omugenzi Cerinah Nebanda, eyasibibwa emyaka ena (4) oluvannyuma lw’omusango gw’okutta Nebanda mu butanwa okumukka mu vvi, ajulidde.



BYA ALICE NAMUTEBI

KKOOTI enkulu ewulidde okujulirwa kwa Adam Kalungi, eyali muganzi w’eyali omubaka wa Butalejja mu Palamenti, omugenzi Cerinah Nebanda, eyasibibwa emyaka ena (4) oluvannyuma lw’omusango gw’okutta Nebanda mu butanwa okumukka mu vvi.

Evans Ocheing munnamateeka wa Kalungi awakanya  eky'omulamuzi wa kkooti e Makindye, Esta Namabyo, okusingisa omuntu we omusango gw'okutta Nebanda mu butanwa, yategeezezza kkooti enkulu nti Kalungi yali telina buyinza na busobozi kujjanjaba mugenzi Nebanda kubanga ssi musawo mutendeke.

Ocheing yategeezezza omulamuzi Lameck Mukasa nti Kalungi yakola kyonna kye yali asobola okutaasa obulamu bwa Nebanda nga kino kye yoleka bwe yayita abasawo babari, abaagezaako okujjanjaba omugenzi.

Yagambye nti eky'okulemererwa kw'abasawo okutaasa obulamu bw’omugenzi tekitegeeza nti Kalungi ye yaviirako okufa kwe.

Kuno baagasseeko nti n’omulamuzi Nambayo yakola nsobi okumusingisa omusango kubanga mu nsala ye yagamba nti okufa kwa Nebanda kwava ku mwenge gwe yamuwa nga kino tosobola kukissa ku muntu yenna kubanga Nebanda yali asussa emyaka 18.

Nebanda yafa oluvannyuma lw’ebitundu eby'amaanyi mu mubiri gwe okulemererwa nga kino kyava ku mwenge saako n’enjaga ebyasangibwa mu mulambo.

Omulamuzi Esta Nambayo yasiba Kalungi emyaka 4 bwe yategeeza nti nga muganzi w’omugenzi, yalina obuvunaanyizibwa obw’okumulabirira wabula n'asalawo okumukuumira mu nnyumba ate nga yali mu mbeera mbi nnyo.

Kalungi eyavaako okufa kwa Nebanda ajulira leero