Gwe balumiriza okutta abantu mu Kampala mukwate

EKITONGOLE kya Flying Squad ekirwanyisa abazigu ab’emmundu kikutte omusajja eyeeyita Fox ng’amannya ge amatuufu ye Swaibu Kirabira gwe balumiriza okukulira ababbisa emmundu n’okutta abantu mu Kampala.Bya JOSEPH MAKUMBI

EKITONGOLE kya Flying Squad ekirwanyisa abazigu ab’emmundu kikutte omusajja eyeeyita Fox ng’amannya ge amatuufu ye Swaibu Kirabira gwe balumiriza okukulira ababbisa emmundu n’okutta abantu mu Kampala.

Kirabira, aliko akabinja k’abantu mukaaga k’akulembera nga nabo bali mu kuyiggibwa baweeyo n’emmundu ze babadde babbisa.

Ono era, alina fayiro z’emisango egya nNaggomola munaana ku CPS mu Kampala kyokka buli lwe bamutwala mu kkooti, asibwa ebbanga eritasukka myaka ebiri ng’akomawo ng’atandikira we yakoma.

“Omusajja oyo mutemu, akuba ate atta.  Bw’asanga abaserikale ba luyongoyongo, abaggyako emmundu abamu n’abatta,’’ omuserikale wa Flying Squad ataayagadde kumwogera mannya bwe yagambye.

“Omubiri gwe gwonna gujjudde ebituli by’amasasi agamukubibwa naye tafa.  Oba alina yirizi mmeka,” bwe yeebuuzizza.

Ayongerako nti, ekibinja kya Fox, kijoozi nnyo nga bwe bakuyingirira, bwe baba tebasse ssemaka, bamusiba emiguwa ne basobya ku mukazi we n’abaana ng’alaba.

Ono era, kigambibwa nti y’omu ku baasobezza ku bawala e Nansana omu ne bamutta.
Yagguddwaako omusango gw’okubbisa emmundu ku fayiro
SD: 12/03/07/2014.

Gwe balumiriza okutta abantu mu Kampala mukwate