Omulabirizi Kisekka awabudde ku lunaku lwa Ssekukkulu

OMULABIRIZI wa Luweero Evans Mukasa Kisekka agugumbudde abawakanya okuzaalibwa kwa Kristo nga December 25 n’agamba nti kino si kikulu wabula kumanya nti yazaalibwa n’ajja afiiririre abonoonyi.

Bya Samuel Kanyike 

OMULABIRIZI wa Luweero Evans Mukasa Kisekka agugumbudde abawakanya okuzaalibwa kwa Kristo nga December 25 n’agamba nti kino si kikulu wabula kumanya nti yazaalibwa n’ajja afiiririre abonoonyi.

Mu bubaka bwe obwa Ssekukkulu n’omwaka omugya, Kisekka yagambye nti Kristo azze aggyewo ebizibu abantu bye batubiddemu omuli obwavu, obukafiiri, entalo n’ebirala n’agamba nti Yesu asobola okukyusa ebitayinza kukyusibwa n’amagezi g’abantu kasita omukkiriza.

 “Abamukkiriza abafuula abasika ate Katonda alina abantu b’akozesa okutuusa ebyamagero bye eri ensi era ng’ayinza okubeera ggwe n’olwekyo buli muntu akozese ekifo kye okutuusa obubaka bwa Katonda eri ensi”, bwe yagambye.

Yasabye abakrisitaayo batandike okwetegekera omukolo gw’okutuuza anaamuddira mu bigere ogunabaawo mu April w’omwaka ogujja agenda okulangirirwa ekiseera kyonna.

Yasiimye olw’emirimu Katonda gy’amukozesezza mu myaka 19 gy’amaze n’asaba ebisobye babimusonyiwe kuba naye muntu ate nga yajja kukola bya Katonda sso si ng’abantu bwe baagala.

Omulabirizi Kisekka awabudde ku lunaku lwa Ssekukkulu